'
Ensuula y'emabega

EBBALUWA Omwezi ogw'ekkumi nebiri 1985

Okulamusa okw'enjawulo eri mmwena mu linya ery'omuwendo erya mukama waffe Yesu Kristo. Guno omwaka 1985 gusembereera okugwakko. Awamu tuli basanyufu okuba n'ekitundu buli ku Katonda kyakola mu bwa kabaaka bwe mu kiseera kino. Akola ebisuubizo bye okumanyibwa eri abantu be nga tebinaba kutukkirira. Endagaano empya yatindika n'okumaliriza era n'okutukkiriza obunabbi bwa baibuli. Egenda ku komenkerezza mu ngeri y'emu, nga entegeka ey'obwakantoda ey'obulokoozi n'omuntu emaririzibwa.

Okuyita mu baibuli yonna, tusobola okulondora ebisuubizo n'okutukilira kwabyo. Okukkiriza okutufu kusimbibwa mubyo ne kufuuka okubikulirwa okulamu eri buli muntu kiseekinomu. Eky'okulabirakko ekirungi ennyo ye Ibulayimu, eyakkiriza ekisuubizo kya Katonda era obumanyirivu bwe bumu ne bumubakko. Isaaka teyali njigiriza, teyali kunyonyola, newankubadde nvuunula. Yeeyava mu kisuubizo ekyo! Amiina. Ky'ekimu ekiba ku bonna abaana ba Katonda abatakyuusibwa na kwagala kwa muntu, naye bazaalibwa okuyita mu nsigo ya Katonda ey'ekigambo etaggwawo.

Pawulo awandika mu Bag. 4:28, “Naye ffe ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali.” Isaaka yali mwana wa kisuubizo, Yokana omubatiza yali nabbi wa kisuubizo, Yesu yali masiya era omunnunuzi w'ekisuubizo. Nabwekityo ow'oluganda Branham yali nabbi ow'ekisuubizo. Ate kirikitya ffe? Ffe baani? Kikuulu nnyo eri ffe okutegera ekifo kyaffe era tuyitemu butereevu okukungana ne Katonda. Tetulina kusaba kutegera ngeri na kwagala kwa Katonda kwokka, tulina okwetegeka okutambula ne Katonda n'okukoola buli kye yagamba.

Era nate Ibulayimu yali kyakulabirakko kyaffe mu bikwatagaana n'okufuna ekisuubizo, okukkiriza n'okugonda. Yaleka buli kintu okutuka mu kiifo mukama kye yamulaga. Nga teeri muntu amuziyiiza. Nabwekityo bwekiri n'ensigo y'omwoyo eya Ibulayimu mu kisera kino. Tufunye ekigambo eky'ekisuubizo eky'ekisera, tukkiriza era tutambula mu kugondera ekigambo. Ekirubilirwa kya Ibulayimu ekyasembayo yali nsi ensuubize. Kiri nakubera bwekityo eri ffe. Tugenda kulaba ekisuubizo ekisembayo nga kitukirira mu kisera mukama ky'akomawo okututwala ewaka mu kiffo kyeyatutekeratekera (Yokana 14). Ate era nate eyo tegenda kuba njigiriza oba nvunnula, kijja kuba kya namaddala.

Mu Bag. 3:29 tusoma, “Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.” Bulijjo waberawo akakwakurizo akakwatagaana ku kisuubizo. Kristo alina okubera mu ffe, kati no naffe tubere mu ye. Era nate eleme kuba njigiriza naye ekya namaddala. Kyilina okutukilira nga bwe kyawandiikibwa mu 1 Yokana. 4:13, “Ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga ku mwoyo gwe.” okwogera nti “Kristo ali mu ffe.” tekimala – kirina okuba nga kyekyo. Ekibuuzo ekya namaddala kiri, oba nga ddala Kristo ali mu ffe. Tusobola okwekebera ffe benyini okusinzira ku Yokana, “Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala.” Okukkiriza mu kisuubizo ky'ekigambo kituwa omuwatwa ku busika. N'olwekyo tusoma mu Bag. 3:18, “…Katonda yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza”.

Tulina okutunuliranga ebisuubizo ebyaweebwa era tubitegere mu kutukirira kwabyo. Okujjako singa ekigambo ekisuubize kiba mu ffe, tusobola okuba mu kigambo ekisuubize era ne tufuna obusika. Kyokka kyokka singa okwagala kwa Katonda kuyuwibwa mu mitima gyaffe, okwagala okwo kulirabisibwa. Kyokka kyokka singa tufuna omwoyo omutuukuvu, tusobola okuberakko ebibala eby'omwoyo. Omuti tegumanyibwa nandabika ya wabweru, naye bibala. Tetwetaga kugegenya kwa sayansi, teeri kwefula ffe benyini oba kutufula.

Mu Bag. 4, tusoma ku kusimbibwa mu mwana. Mu lunyiriri 6 lwogera, “Era kubanga muli baana, Katonda yatuma omwoyo gw'omwana we mu mitima gyaffe … oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda okuyita mu Kristo.” Obwakabaka bwa Katonda si bya kuwandiika oba byabusomi obwa waggulu ennyo naye mazima ag'obwakatonda. Bwetubera mu bwakabaaka bwe, awo obwakabaaka bwe bubera mu ffe.

Okutegera biki Katonda by'alikola kakano mu bisera eby'enkomeleero, tulina okufumintiriza ku biki byeyakola okuva ku ntandikwa. Buli kintu ekyasibuka naye kitukiridde era kitukulembera okutuzaayo gyali. Enkwatagana yaffe naye eyita mu kigambo era omwoyo wansi w'omusayi ogwayuyika gw'omusayi gw'endagaano empya.

Mukama yatebereeza era n'ayogera okuyita mu bawereeza be, banabbi. N'okutandika kw'endagaano empya, kisuubizo kimu ku kimu byali bigenda bitukilira. Mu Yokana omubatiza n'obuwereeza bwe, okwogera kw'obunabbi obwa Isaaya. 40:3 ne Mal. 3:1 bwafuka amazima amalamu. Yabulira obwa kabaka bwa Katonda; kisera ky'ekimu yali kitundu ku bwa kabaaka. Mukama yamuwaako obujulizi, “Amateeka ne banabbi byabawo okutuka ku Yokana; okuva olwo enjiri y'obwakabaaka bwa Katonda ebulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi.” (Luk. 16:16) Okusingira ddala, olunyiriri luno lukozesebwa okunyomuula obutufu bw'endagaano enkadde. Naye nga tekisanidde kuba bwekityo n'akatono. Ekyawandiikibwa kino kitutegeza nti buli kyasuubizibwa mu endagaano enkadde kyali kitukirizibwa paka ku nukuta mu endagaano empya. Awo mu lunyiriri oludakko tusoma, “naye kyangu eggulu n'ensi okuggwawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwawo.” Buli kigambo kya Katonda kitukiridde era kiri n'ekiffo kyakyo. Kyetagisa mu kisera kino okuba n'okwenkanankana. Mu kubulira, ebyawandiikibwa byonna birina okulowoozebwa.

Obuwereeza bwa Yokana Omubatiza tebwetagisa kuvunuula naye bwali bulina okutegerebwa era busimbibwe mu byawandiikibwa. Nga bwekyogeddwa, Yokana teyali kuvunuula, era tewaaliwo njigiriza yamukolwako. Okuyita mu ye, ekigambo ekisuubize eky'essaawa kyafuka ekyanamaddala. Bonna yabakulembera eri endiga ya Katonda. Awo wokka Katonda w'akola okusinzira ku kigambo kye, we waali obwakabaaka bwe. Yokana yabulira mu ddungu; ate ky'ekisera ky'ekimu, natekateka ekkubo lya mukama. Tekyaliwo kuyiita mu maanyi oba kuwaguza naye kuyiita mu mwoyo wa Katonda okwesigama ku nabbi eyalina ekigambo eky’ekisuubizo eky’essaawa. N’akino, tukuba ekirubilirwa ekikulu eky’okubikulirwa kwonna. Tulina okutegera nti byonna byakolebwa okusinzira ku kigambo mu kisera ekyagerebwa.

Bikumi na bikumi eby'emyaka kyali kisuubizo ekyawandiikibwa, awo no kyali kitambula era nga kyayogera, amazima amalamu. Tulina okukimanya nti entegeka ya Katonda etaggwawo era ne kigendererwa birikutukkirizibwa mu bwa kabaka bwe. Ebisuubizo byonna ebikwata ku kujja kwa Kristo okwasooka bya tukkirizibwa paka ku nukuta. Kati ne kakano kirina kuba bw'ekityo nga okujja kwe okw'okubiri tekunaba. Buli kisuubizo ekyatuweebwa tekirina ku kubizaganyakko ndowooza oba kuvunulwa, naye galina okufuka amazima amalamu okuyiita mu kutukkirira. Katonda y'akola bwatyo, tusobole okukebera era n'okukakasa ebintu byonna era tulabe oba nga ebisuubizo n'okutukirira bikaanya. Ne ebintu ebigenda okubawo biteebwa mu ntegeeka..

Mu bubaka, “Okukolera Katonda omulimu nga si kwagala kwe,” obwa bulirwa nga 18th omwezi ogw'omusanvu, 1965, ow'oluganda Branham yawa okulabula mu linya lya Yesu Kristo, “togaata ko kintu. Totekamu ndowooza zzo mu kyo … totwala kintu kipya. Biiri kutayaaya buli wantu, era bingi ebisingakko birikujja. Naye totwala bintu bino.”

Anni awuliriza kino? Bintu bimeeka ebipya ebyaletebwa! Ekintu ekirala bwekitasika, ekintu ekirala kigunjibwa. Naye bwe tuba tuuze eri okuwumula kwaffe mu Katonda, tugenda kulindirira n'okuguminkiriza okutukilira kwa buli kisuubizo Katonda kyeyawa. Akuuma ekigambo kye. Buli amukkiriza, talinakuwazibwa.

Yesu Kristo, mukama waffe ye yali masiya eyasuubizibwa. Mu ye ekigambo kyatekakko omubiri. Obunabbi bwonna, n'obwo obwayogera ku kubonabona n'okufa, okuzukkira n'okugenda mu ggulu kwatukirizibwa. Ng'omununuzi waffe, yali n'okutambula mu ngeri eno, era n'awangula okufa n'egeyena era n'azukkira mu buwanguzi. Abanunule era nabo baliwangula okuyiita mu ye eyakisobozesa eri ffe. Ow'oluganda Branham yagamba, ekigambo eky'essaawa kirikomererwa. kino tekyandibaddewo mu kwogera obwogezi oba mu kuwandiika buwandisi kwokka. Nga erina okuberayo abo ekigambo mwe kirina okufukira ddala ekitufu. Akasigo ak'engano katekwa okufa nga obulamu obupya tebunaba kuvayo. Ensigo ya Katonda eyiita mu mutendera ogw'okufa naye tesigara mu kufa, kubanga akawuuka ak'obulamu kavayo.

Bwetubera mu bwa kabaka bwa Katonda, tetutegeka ntekateka zaffe. Tubera na kuyayaana kumu kwokka: okwezula benyini mu ntegeka ya Katonda. Amaanyi gaffe gonna galikoma. Okusoka tutegere okwagala kwa Katonda okuyita mu kigambo kya Katonda. Awoono tulina okwetekateka okugonda n'okukola nga bwekisana. Mu bya wandikibwa ebituukuvu, buli kintu okutuka ku byasembayo ebikwatagana n'entegeka y'obulokoozi byawebwakko obunnabbi. Mu kisera ekitufu, asindika nabbi okulangirira eri abantu be buli kigenda okubawo (Yer. 1:5, Am. 3:7).

Ensuula eddako