Ensuula y'emabega

Okulamusa okw’enjawulo eri mmwena, ab’oluganda bange abaagalwa ne bannyinaffe mu Kristo mu mawanga gonna ag’enjawulo, ne kigambo okuva mu Baruumi 1:1-5:

“Pawulo omuddu wa Yesu Kristo eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda, gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, … eyatuweesa ekisa n›obutume olw›okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw›erinnya lye …”

Ennyanjula ezigumivu ey’omutume mu bbaluwa ye eyasooka! Olw’ekisa yayitibwa mu butume okuleeta okuwulira okw’okukkiriza okuyita mu buweereza bwe eri abakkiriza okuva mu mawanga okuyingira mu kitiibwa kya Katonda. Kino kyatuukirira si lwa kubuulira bubuulizi buli njiri yonna, wabula okuyita mu kubuulira enjiri ya Katonda nga bwe yalangirirwa ne bannabbi abatukuvu era eyasuubizibwa mu byawandiikibwa ebitukuvu eby’endagaano enkadde. Enjiri y’emu etaggwaawo, mu byonna ey’esiigama ku byawandiikibwa ebitukuvu gye tulangirira n’okutuusa kaakano. Omutume Pawulo yali amanyi obuvunannyizibwa obw’ajjira ku kuyitibwa kwe okw’bwa Katonda era n’awaayo obulamu bwe bwonna eri obuweereza bwa Mukama. Bwe gutyo bwe guli n’okutuusa olunaku luno eri buli muweereza wa Katonda ow’amazima eyafuna okuyitibwa buterevu okuva eri Katonda.

Mu Baruumi 15:17-18 ajjulira, “Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. Kubanga siryangganga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw’okuwulira kw’ab’amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa …”

Ne mu ndagaano enkadde, okukkiriza n’okuwulira Katonda ye yali ensonga enkulu mu bantu ba Isiraeri (Abaebbulaniya 11):

Olw’okukkiriza Isiraeri yatwala ensi ensuubize.

Okuyita mu kuwulira baafuna emikisa egy’amaanyi mu nsi ensuubize.

Ku lw’obujeemu bwabwe, ky’abavirako okutwalibwa mu busibe bwa Baabulooni.

“Naye nebatagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w’amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy’oli ne bakolanga ebinyiiza ennyo.” (Nekkemiya 9:26).

“Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera kaseera buseera: abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo.” (Isaaya 63:18).

Ekkanisa ey’edda, olw’okukkiriza yaweebwa ebisuubizo byonna, eky’omukisa omubi baasigala nga bawulize era, bwe batyo, mu ekyo eggwanga eryaweebwa omukisa akaseera katono. Okuyita mu bujeemu abakkiriza baasasanira mu m’adiini mangi ag’enjawulo. 

Okukkiriza okw’amazima n’okuwulira bye, n’olwekyo, ky’amugaso mungi eri buli muntu yenna ku mmwe ali ekitundu ku kkanisa y’endagaano empya. “Mwekume ab’oluganda omutima omubi ogw’obutakiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw’okuva ku Katonda omulamu.” (Abaebbulaniya 3:12). Obutakkiriza, mazima ddala, kw’ekuva ku Katonda omulamu. Okukkiriza kwokka kwe kutugatta ku ye, nga kuleeta obuwuulize, era mu kumaliriza ekivamu kwe kwagalana mu bakkiriza, nga omutume Peetero bwe yawandiika, “Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw’okwagalananga ab’oluganda okutalimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n’okufuba okungi.” (1Peetero 1:22). 

Nga bwe ky’ali ku Isiraeri, Katonda tayinza kukiriza butakkiriza n’obujeemu okw’eyongera mu kkanisa ye okuva mu mawanga.

Ibulayimu Kitaafe mu kukkiriza, ky’ekyokulabirako kya Isiraeri, ekkanisa, era n’abakkiriza bonna. Yakkiriza Katonda (Abaruumi 4:3) era oluvannyuma n’afuna obumanyirivu n’okutuukirira kw’ekisuubizo Mukama kye yali amuwadde. Mu kuwulira okw’enkomeredde yali yeeteeseteese n’okussaddaaka omwana we Isaaka ku kyoto. Omutume Yakobo yagatta okukkiriza, okuwulira, n’emirimu, ng’ayogera ensonga zino ezigoberera: “Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng’okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa? Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana? Olabe ng’okukkiriza kwakolera wamu n’ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye.” (Yakobo 2:20-22). Yesu Kristo, Omwana eyasuubizibwa, yeetoowaza nga muwulize n’okutuusa okufa era okufa okw’oku musalaba (Abafiripi 2:7-8). “Awo bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka ensonga y’obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira …” (Abaebbulaniya 5:9). Eno y’erina okuba ensonga mu ffe fenna abaana ab’obulenzi n’abobuwala aba Katonda abaali ku musalaba ne Kristo era ne bazuukira naye mu bulamu obuggya. Nga Omutume Pawulo, bayinza okujulira, “… naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze …” (Abaggalatiya 2:20). 

Buli lunaku oluyita esuubi lyaffe ry’eyongeera okubeera mu kukomawo kwa Yesu Kristo okwasuubizibwa. Kaakano, ku nkomerero y’ekiseera ky’ekisa, abakkiriza ab’amazima abayitiddwa okuva mu mawanga ag’enjawulo balina okweyawula okuva ku bintu byonna ebitakanya na Kigambo era ebitali bumu ng’okwagala kwa Katonda. Ly’ekubbo lyokka mwe balifuuka “ekigambo omugole” ng’alina okusisinkana anaawasa omugole – si “bubaka omugole,” kubanga waliwo ebibinja binji eby’enjawulo mu bubaka aboogera nti be bagole. Waliwo omu yekka erinnya lye kye “Kigambo kya Katonda” (Okubikkulirwa 19:13). era waliwo omugole omu yekka ow’Omwana Gw’endiga alibeera mukazi we oluvannyuma lw’embaga ey’obugole: “Ng’agamba nti jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w’Omwana Gw’endiga.” (Okubikkulirwa 21:9). Waliwo ekkanisa emu yokka ey’omugole okuli erinnya lye era eyateekebwawo edda okufuna obumanyirivu bw’okutuukirira kwa buli kisuubizo ekisangibwa mu kigambo kya Katonda. Eddayo ku njigiriza eyasooka era n’ebikolwa eby’ekkanisa eyasooka era ne mu kwagala okwasooka era nga bali bumu mu mutima era n’emmeme emu, nga bwe ky’ali ku Lubereberye.

“Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda, atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.” 

“Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe.” (1Yokaana 4:7-8+12).

 

Ensuula eddako