EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO
Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwanaga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiinkiriza, abuulirira n'obuwombeefu abawakanya, mpozzi obanga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima, era balitamiirukuka okuva ku mutego gwa Setaani, oyo ng'amaze okubakwasa okukolanga okw'agala kw’oli. (2 Timoseewo 2:24-26).
Mu kulaga kuno tuli kukolaganga n'obulamu n'okufa. Mu Kigambo mulimu obulamu, mu ku vunuula mulimu okufa. Buli ku vunuula guba mutego omulabe gw'ateekawo okw'etolooza ensingo z'abatu. Bulijo tanyweeza nyindo mu kiseera kyennyini, naye akumirira abantu bano ng'abawambe n'abateeka mu buddu mu kw'agala kwe ng'ekyawandiikibwa eky'ogeddwako bwe ky'ogera mu bulambulukufu.
Okuva bwe badde mu kuweereza omurimu gwa Katonda oburungi nga ekitundu kye kyassa, waliwo obukakafu obutereddwawo n'ebangi ab'oluganda abaweereza mu nsi yonna olw'ekisa kya Katonda. Bategedde nti Katonda y'anonda okutwala enjiri ye mirembe n'emirembe eri amawanga g'ensi eno. Oluvannyuma lw'obubbaka bw'oluganda Branham Kaakano murimu gwange okugabana Ekigambo ekituufu ekya Katonda n'abantu ba Katonda, mu kukolaganira awamu ne bonna abaddu abesigwa. Nga bwe ky'ali mu nnaku za Mukama waffe era ne mu biseera by'abatume ne bannabbi, bw'ekityo bwe kiri n'obubbaka leero, "… omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe." (2 Peetero 3:16). Bw'ekiti bwe kibadde okuyita mu mirembe gyonna. Okuvunuula kwe byawandiikibwa kulesewo egy'awukana nyingi n'omuvuyo mu jigiriza, wadde ne mu bubbaka bwe biro bino. Abaweereza abatuufu abaali ku by'omwoyo eri abantu ba Katonda tebakyayagala kukkiriza mbeera ya kaakano nera babuuza okulambulurwa ku nsonga ez'enjawulo mu bibuuzo Bonna abaana ba Katonda balina edembe n'okwagala okutegeera eby'okuddamu ebituufu eby'esigama ku by'awandiikibwa ebitukuvu byokka.
N'ategeera ow'oluganda Branham mu buntu era nali mujulizi w'obuweereza bwe obw'ali oburungi. Mu gw'omukaaga 1955 Nze nabeera mu kunggana ze okumala ennaku mussanvu. Okuva mu gw'omwenda 1958 n'atandika okufuna entambi z'ebyo bye yabuulira mu USA okuyita ku Email era netandika okubikyusa mu lulimi olu Germany buli kiseera. Mu gw'ekumi nebiri 1962, mu kiseera nga ndi kw'ogerezeganya n'owoluganda Branham, n'amunyonyola e'ngeri gye n'akikolamu, eky'okulabirako nga kozesa obuzindala bw'oku mattu okuwulirisa okubuulira mu kiseera kye kimu nga bi kyusa mu lulimi olu Germany eri abantu abakungganye. Mu 1963 ya kijukira na ky’ogeerako,
"Obuweereza bw'okutambi kintu kya nsi yonna, buli wamu. Ndowooza nti y'emu ku n'geri Katonda gya sassanyiza obubbaka gye butwaliddwa mu bantu abatakkiriza Katonda wa Baibuli, okuzibwayo gye biri n'okukyusibwa . Mu Germany bafuna entambi bagenda mu kunggana zaabwe, ez'abantu nkumi n'akumi; ne bateeka obuzindalo obutono mu mattu gaagwe, era ne batekako akatambi. Era nga bw'endi kw'ogeera, Omuweereza ayimirira awo ng'akola okulaga kwe kumu, mu nnimi endala nga akyireta eri abantu nkumi. Nera nkumi balokolebwa ne bawonyezebwa okuyita mu ntambi zoka ezitwalibwa mu nsi yonna. Zonna mu luzungu naye nga zi kyusibwa mu nyinji, ennimi ez'enjawulo nyinji (Bulaya) mu ma ggwanga (Amaserengetta ga Africa) okwetoolola ensi. Tuwulira okuva mu bo, okudayo okuyita mu E-mail." (Obujulizi, Shreveport, LA, V-17-N-5; Olw'okuna, 63-11-28). Mu mazima ddala Ow'oluganda Branham yali ategeza ow'oluganda Sidney Jackson mu Maseregetta ga Africa neri nze, nga bwe twali fekka abakyusa okubuulirakwe mu nnimi endala.
Okusuka emyaka amakumi anna mu musanvu agayise Nsomye n'empulirisa okubuulira kwe emirundi n'emirundi era nga zikyusa, N'olw'ekyo sobola oku ggamba nti nkolera ddala mu bubbaka bw'enkomerero ddala nnyo ekitali ku muntu mulala yenna. Nange badde manyiridde Ekigambo kya Katonda, ebyawandiikibwa, okuvira ddala mu nnaku z'obuvubuka bwange. Ekituufu nti Abalunzi batono aba buuza, "Ebyawandiikibwa bigamba kyi?" Nga ba buuza ebibuuzo bino n'awulira nga siri mu tebenkevu, kubanga eby'okuddamu by'ebawa nga biri n'okusinzira ku Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa ekibeerawo emirembe gyonna (Isaaya 40:8; 1 Peetero 1:23).
Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham?
Kibuuzo 2 Bigambo ki byennyini ebyatumibwa William Branham?
Kibuuzo 3 Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero?
Kibuuzo 4 Otereza nnabbi mu nsonga endala?
Kibuuzo 5 Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka?
Kibuuzo 6 Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza?
Kibuuzo 7 Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu?
Kibuuzo 8 Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa?
Kibuuzo 9 Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963?
Kibuuzo 10 Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuuka omusanvu?
Kibuuzo 11 Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"?
Kibuuzo 12 Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7?
Kibuuzo 13 Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana?
Kibuuzo 14 Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri"
Kibuuzo 15 Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27?
Kibuuzo 16 Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa?
Kibuuzo 17 Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham?
Kibuuzo 18 Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli?
Kibuuzo 19 Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama?
Kibuuzo 20 Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi?
Kibuuzo 21 Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"?
Kibuuzo 22 Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba?
Kibuuzo 23 Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda?
Kibuuzo 24 Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa?
Kibuuzo 25 Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham?
Kibuuzo 26 Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero?
Kibuuza 27 Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977?
Kibuuzo 28 Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri?
Kibuuzo 29 Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina?
Kibuuzo 30 Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa?
Kibuuzo 31 Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa?
Kibuuzo 32 Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey’obulokozi?
Abemikwano abagalwa mu Mukama,
Abemikwano abaana ba Katonda,
Ka nsooke ngambe kino: Ngagala okukikola nga kilambulukufu okuva mu ntandikwa nti, nga bwe mu na kilaba, kya nkomeredde ekyitakirizibwa okw'esigama ku jigiriza ku kyawandikibwa kimu oba ku kw'ogeera kumu nti Mukama waffe, omutume, oba nnabbi kye yakola. Kya bwa Katonda ddala ebintu byonna biri n'okwesigama ku bujulizi bubiri oba bussatu (Ekyamateeka Olw'okubiri 19:15), ku bubiri, bussatu oba ebyawandiikibwa ebirala ebisingawo. Te tulina njiri emu yokka, naye tulina enjiri nnya, okutuwa amawulire agetagisa okutukakasa era n'okumaliriza. Eky'okulabirako, bw'ota twala okutumibwa okunene nga bwe kusangibwa mu Matayo 28:16-20, Makko 16:15-20, Lukka 24:33-53, era ne Yokaana 20:19-31 nga byonna, tobilina mu bumalirivu bwabyo bwonna. Era bw'otakola twala bino ebitundu ebinna ebyokutumibwa okunene eri Ebikolwa by'abatume 2:38 era ne byonna ebyawandiikibwa ebigenderawo, okyali tolina kulaba kwa munda ku somo lino, tolina kya kuddamu kituufu ku kubatizibwa kwennyini okwa Baibuli.
Buli muntu yenna ayagala okutegeera buli kintu ekikwata ku kuzaalibwa, obulamu, obuweereza, okubonerera era n'okufa, nera n'okuzuukira era n'okutwalibwa muggulu kwa Mukama waffe era Omulokozi alina okusoma enjiri ennya zonna. Era buli muntu eyandiagadde okutegeera nti Mukama ya yigiriza abatume be ku bwakabaka mu banga ly'enaku makumi anna nga tana twalibwa muggulu alina n'okusoma Ebikolwa by'abatume 1:1-3. Ebintu byonna ebitateekebwa mu njiri ennya obisanga nga bigenda mu maaso, eky'okulabirako, nti Mukama waffe yatwalibwa mu ggulu mu kire osobola okukisoma mu Bikolwa by'abatume 1, akanyiriri ko 9. Era ne mu kanyiriri ke 11 ba tugamba nti alikomawo mu mubiri, mu n'geri y'emu gye yatwalibwa mu ggulu (Lukka 24:50-51). Mu 1 Yokaana 3 tusoma , "… tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana: nga Ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali." Amiina!
Buli muntu yenna ayagala okuyiga ku kw'ogeera kwa Pawulo n'okutumibwa kwe era n'obuweereza tasobola mu bugonvu kusoma Ebikolwa by'abatume esula 9 yokka olina okugattako esula 22 era ne sula 26 okufuna okutegeera kw'awamu era ne 1 Abakkolinso 15:1-11, kubanga ky'ali Omutume Pawulo – si Peetero – eya ggamba nti Mukama Yesu yalabikira ab'oluganda abasuka mu 500 mu kiseera kye kimu oluvannyuma lw'okuzuukira kwe. Okuva ku ky'okulabirako kino tusobola okulaba nga tekimala okutwala ekyawandiikibwa kimu kyokka, naye tulina okutwala ebyawandiikibwa byonna ebikwata ku somo ly'erimu.
Naffe tulina okwekweka mu kulabula okwaweebwa n'omutume Pawulo mu 2 Bakkolinso 11:1-4, ku n'geri Setaani Omusota bwe gwalimbalimba Kaawa. Bwe ya yogeera eri Kaawa, mu bugonvu ya yongeerako ekigambo kimu "tekiri bw’ekityo" nga bwe kisangibwa mu Lubereberye 3:1 ku ekyo Mukama Katonda kye yalagira Adanu mu Lubereberye 2:16. Bw'atyo bwe y'amuleeta wansi w'okusikiriza kwe era n'amutwala nga muwambe mu kwagala kwe. Omulabe bulijo ayongera okukubaganya ebirowozo ku somo ebyo Mukama lye ya yogerako, naye takuma Kigambo bw'ekiri – tasigalira mu mazima ge Kigambo ekituufu. Ekya yogerwa ky'ali kilambulukufu, "ebibala by'emiti egy'omulusuku tulya …" Omulabe ya siga okubuusabuusa ng'agamba, "Bw'ati bwe yayogera katonda nti temulyanga ku miti gyonna egy'omulusuku?" nti ekigambo kimu ekya yongerwa ku Katonda kye yali agambye mu kusooka kwafuuka okulumibwa omusota ogw'obusagwa. Okuva kw'olwo abagalana abasooka era n'abantu bonna basalirwa gwa kufa ne beyawula ku Katonda. Mu kusooka Omwana w'omuntu asiga yennyini eya namaddala Ekigambo kya Katonda n'awo omulabe mu bwangu ddala ajja n'asiga ensigo ye ey'obutakiriziganya mu n'geri y'okuvunuula (Matayo 13). Bw'atyo bw'abatwala nga bawambe era n'abawayo mu kwagala kwe. Bino bye biro bya bantu ba Katonda okulokolebwa okuva mu mitego gyonna egy'omulabe era n'okuletebwa mu kwagala kwa Katonda.
Ekyokulimba kyonna kikolebwa okukirizibwa mu birowoozo by'omuntu nga bongerako era nga bavunuula enjogera emu. Okulabula obutongerako oba okujjako okuva ku bigambo by'obunnabbi bwe kitabo kino kiri nokutwalibwa nga kya bumalirivu (Okubikkulirwa 22:18-19). Kubanga emirambe gyonna ebidirira tebikyusibwa. Eri buli kibuuzo kya Baibuli, ku buli somo waliwo eky'okuddamu kimu kyokka eky'amazima ekisobola okusangibwa mu byawandiikibwa ebigederawo. Envunuula ey'enjawulo enyinji gwe murimu gw'omulabe – ebidirira oluvannyuma lw'okulya omuti gw'amagezi. Kye kimu ekigenda eri enjigiriza ezimeruse ez'enjawulo mu bubbaka bwe biro by'enkomerero. Bwe tutwala ebintu byonna okubiiza mu byawandiikibwa okusanga okuddamu kumu okutuufu, tewali butategeragana busoboka. Okuwulirisa kw'abaweereza bonna era n'amakungganiro gonna nate gali n'okuteekawo esira ku bugonvu n'okuwanekitiibwa Ekigambo kya Katonda, nga kye Kyokka eky'enkomeredde muggulu ne ku nsi. Mu kubuulira okuwanvu Ow'oluganda Branham kwe ya buulira, "Ekigambo ekya yogerwa y'ensigo ey'anamaddala" (Ogw'okusatu 18, 1962), bwonna awamu lwamala amasaawa agasuka mu mukaaga, tulaba ebituufu bye yakola eri Ekigambo kya Katonda. "Obanga tebogera nga Ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeererera." (Isaaya 8:20).
Mu kukkirizibwa, waliwo ebigambo ebikalubu mu Kigambo kya Katonda ne mu bubbaka bye tulina okuteka mu tegeka ya Katonda. Eky'okulabirako, Mukama waffe ya ggamba edda, "…temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja …" (Matayo 10:23). Naye n'agamba, "Mazima mbagamba nti kubano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa bwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi." (Makko 9:1). Tulina okulaga ebyayogerwa bw'ebityo mu butuufu bwabyo okusinzira ku tegeka y'obulokozi era n'emukutukirizibwa kw’abyo. Amateeka ne bannabbi baali okutuusa Yokaana (Lukka 16:16), okuva kw'olwo obwakabaka bwa Katonda bwa buulirwa. Mu lunaku lw'abapentakoti bwakka wansi n'amaanyi nga bwe ky'ali kyalangirirwa ne Yokaana Omubatiza mu Matayo 3:2 era ne Mukama waffe mu Matayo 4:17; ekkanisa yazaalibwa n'efuna obulamu bw'omwoyo, era n'omulokozi ow'ekitiibwa yatambulira mu makati gaabwe. Mu kubikkulirwa 1 Yokaana yalaba Omwana W'omuntu ng'atambulira mu Kitiibwa kye wakati we Kkanisa Ye, nga zikikirirwa ne tabaaza musanvu.
Omutume Pawulo y'ebaliramu mwennyini bwe ya ggamba, "Laba, mbabuulirira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa.” (1 Abakkolinso 15:51). ffe kaakano tusuubira okutuukirira kw'abyo. Omutume Peetero yalangirira ku byawandiikibwa n'okuwandika kw'omutume Pawulo, ng'agamba nti ebintu ebirala bikalubu okukolebwa (2 Peetero 3:15-16). Tewali n'omu asobola kugumira kunyonyola oba okukola enjigiriza kw'ekyo Ow'oluganda Branham kye ya ggamba eby'ali ebikalubu okubitegeera. N'agamba, eky'okulabirako, "Era obubonero nga bu menyeddwa era ng'ebyama bibikkuddwa, wansi wajja Malayika, omubbaka, Kristo, ng'ateka ebigere bye ku nsi era ne ku nnyanja ne musoke ku mutwe gwe. Kaakano, mujjukire, Ono malayika w'omusanvu ali ku nsi mu biseera by'okujja kwe." Ow'oluganda Branham yali ku nsi nga "Malayika w'endagaano" y'ebikkula mwennyini mu bire by'obwa Katonda. Okunogola: "Malayika omukulu ow'endagaano, Oyo eyali ne Musa mu lukola Oyo eyajja eri Pawulo mu lugendo ngayolekera Damascus, Oyo y'omu eyakiriza ekifaananyi kye okukubibwa naffe: Y'omu Oyo eyali mu kifaananyi mu gulire ly'obulamu mu lunaku luli, Ekigambo kye kimu ne Katonda Y'omu …" (Kristo kye kyama kya Katonda ekibikuliddwa, olupapula 92).
Ye yongerayo n'agamba, "Era wano addayo mu sula ye kumi oluvannyuma lwe kiseera ky'okujja …" Kiki ekiseera ky'oluvannyuma lw'okujja kwe kye kitegeza? Kujja ki okw'ogerwako? Era kiki ekiddayo mu sula ye kumi oluvannyuma lwe kiseera ky'okujja kye kitegeza, era n'okweyongerayo? Ebiseera bitono nga bya kayitawo Ow'oluganda Branham yayogera, "Atutte omugole omunaggwanga era ajja ku muggya wano amutwale mu lubiri, eri enyumba ya Kitaawe mu kitiibwa eri embaga y'obugole era ajja kumuleka edde wansi ategerekeke eri baganda be, abo 144,000." Ababuulizi balina okwetegereza eri eby'ayogerwa ebirala, mu butuufu nga babiteka ku ebyo ebibikwatako, era mu kiseera kye kimu nga balekera okutekangawo ebirowozo byabwe! Kubanga tewali byawandiikibwa, tewali by'ayogerwa eby'omutume Pawulo oba eby'ow'oluganda Branham ekikiriza okuvunuula kw'omuntu. Katonda mwennyini ye vunuulira, atunulira Ekigambo kye okutukiriza kye yasuubiza, abantu ba Katonda balina okulekera okukkiriza ebyo byonna ebyavunuulwa ebiri kugenda mu maaso kaakano! Ekkanisa y'omugole kaakano erina okuddayo mu butuufu okusobola nate okutambulira awamu mu kwegatta n'omugole omusajja, Okukomawo kwe kusemberedde era ne mu kussekimu ne buli Kigambo kya Katonda! Ebiro by'okusalawo bituuse.