Obubaka bw'ekiseera n'okulagira kwa Katonda
Okulamusa eri abakkiriza bonna, ab'oluganda bonna ne banyinaffe mu nsi yonna ne byawandiikibwa okuva mu 2 Peetero 3:9: "Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye aguminkiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya."
Kino kye kisuubizo: "Era oba nga ngenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate nembatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo." (Yokaana 14:3).
Tuli basimu nnyo eri Katonda olw'ekigambo kye ekyomuwendo era ekitukuvu, ku lw'endagaano enkadde n'empya, Enjiri, ebbaluwa ey'abatume, era n'ekitabo eky'okubikkulirwa. Buli somo lya Baibuli lya teekebwa mu kitabo ekyo, n'amazima gonna.
Ekintu ekikulu ekyabakkiriza bonna kyali era lye somo okujja okw'okubiri okwa Kristo. Nga bwe kiri kaakano, kino kyegatira ddala n'obubaka obusembayo obwatumibwa okuyita, okwawula era n'okuteekateeka ekkanisa ya Yesu Kristo eri olunaku olw'omuwendo olw'okukomawo kwa Mukama waffe.
Mu 2 Peetero 3:14 tusoma: "Kale, abagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge."
Abatume baali ba kulemberwa okuwa abakkiriza ebiragiro eby'enjawulo ku somo ery'okukomawo kwa Mukama waffe. Yokaana yawandiika mu 1 Yokaana 2:28: "Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe." kya maanyi nnyo okutwala kino nti omugugu omwoyo gwa Katonda gwe gwateeka ku mitima gy'abatume ku bikwata ku mugaso ogw'okweteekerateekera olunaku luno olw'omuwendo, era n'engeri gwe gw'abatambuza okubiteeka mu buwandiike. Kino kigendera ddala gye tuli okuva bwe tumanyi ddala nti tutuuse mu nsonga y'ekiseera ng'okukomawo kwa Kristo kunnatera okutuuka, so tusoobole okuba n'obumanyirivu bw'okweteekateeka.
Ebigambo Omutume Pawulo bye yawandiika eri muddu mune Timoseewo bikolebwa ddala gye ndi leero, naye neri bonna ab'oluganda abesigwa ababuulira Ekigambo eky'abikkulwa era ne bagaba emmere ey'omwoyo: "Weekumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo …" (1Timoseewo 6:14). Kaakano, nga okukomawo kwa Mukama tekunnatuuka, eky'enkomeredde okulangirirwa kulina kubeera kwa Baibuli. Kiri ku kubuulira Ekigambo kya Katonda ekitukuvu awatali kunenyezebwa.
Omutume yawandika mu lunyiriri 15 mu kulaga okukomawo kwa Mukama: "Kw'aliranga mu ntuuko zakwo Nannyine buyinza yekka atenderezebwa kabaka wa bakabaka era Mukama w'abami …"
Katonda yateekawo ebintu byonna mu bungi: e'ntegeeka yonna ey'obulokozi, kiki ekiribaawo mu kujja okusooka okwa Kristo, era n'ekigenda mu maaso kaakano ng'okukomawo kwa yesu Kristo okw'okubiri tekunnatuuka. Omutume n'awandiika: "Kw'aliranga mu ntuuko zakwo …"
Eyo y'ensoga lwaki kigendera ddala mu biro byaffe nti obubaka bwe buteekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo.
Mu 2 Timoseewo 2:15 tusoma: "Fubanga okwelaga ng'osiimibwa Katonda,omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati Ekigambo ekyamazima."
Katonda yalina ebirowoozo byennyini ebya buli kintu era tuli basimu kituufu, ndimusimu ku lw'emyaka mingi gy'ensobodde okulangirira Ekigambo kya Katonda, awatali kuteekawo ku vunuula kwonna; kituufu mbuulira Kigambo kya Katonda kyokka ekitukuvu.
Ndimusimu ddala kubanga Mukama y'andagira mu 1980: "Omuddu wange, yimuka osome 2 Timoseewo 4!” N'ayimuka, n'ekwata Baibuli yange n'ensoma: "Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olwokulabika kwe n'obwakabaka bwe; buuliranga Ekigambo; kubirizanga mu bbanga erisaaniramu n'eritaasaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza."
"Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kw'abulamu; naye amatu nga gabasiiwa, balikunggaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli; baliziba amatu okulekanga amazima, balikyamya okugobereranga enfumo bufumo. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweerezakwo."
Esula yonna erina kingi kyetegeeza eky'enjawulo gye ndi, okuva ku lunaku olwo. Tulaba kulabula kwa ngeri ki okwawandiikibwa mu nyiriri ezisooka. Mu kiseera ekyo, Pawulo yalabula muddu mune Timoseewo. Mu 1980 Mukama yampa ebyawandiikibwa bino awo netulyoka tusoma ebyo Pawulo bye yayogera mu kulaga obuweereza bwe, era kaakano kigendera ddala gye tuli, kubanga bwe bubaka obusembayo obulangirirwa n'ekilagiriro kya Katonda:
"Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nage n'ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era amawanga gonna balyoke bawulire: n'endokoka mu kammwa k'empologoma." (2 Timoseewo 4:17).
Tulina ekintu wano eky'enjawulo ennyo. Pawulo yakkiriza nti okubuulira kwe kw'abikkula buli kintu Katonda kye yasalawo mu ntegeeka ye ey'obulokozi, era n'olwekyo Mukama yamuwa amaanyi. Tekyali nti kigambibwa; tekyali ndowooza ya muntu. Okwo kwali kulagira kwa Katonda! Era n'amaanyi agamuweebwa tegali ga Muntu, naye omulimu gw'omwoyo Omutukuvu.
Pawulo yali yawandika ku kukomawo kwa Yesu Kristo, mu 1Abakkolinso 15, ne 1 Abasessaloniika 4 era ne mu byawandiikibwa ebirala. Era nate tusoma mu Tito 1:3 "Naye mu ntuuko ze yalabisa Ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda omulokozi waffe bwe kiri."
Tusomye nti okujja kwa Mukama kulituuka mu kiseera kyakyo kye yateekawo era wano nti yalabisa Ekigambo kye mu kiseera kye yatuteekerawo. Byomi bigenda mu maaso mu biro byaffe: okulangirira kw'obubaka obw'ekigambo eky'abikkulwa era n'okukomawo kwa Mukama mu biro eby'ateekebwawo.
E'tendo n'ekitiibwa liddire Mukama waffe! Yabikkula Ekigambo kye eky'alagirwa mu biro by'ekiseera kino eri nnabbi we William M. Branham; mu neri efaanana, Pawulo yasoobola okuwa obujulizi ku kulagirwa okwamuweebwa.
Waliwo okuyitibwa okwa Katonda mu ndagaano enkadde n'empya, era ne bonna oba yali Nuuwa, Musa, Eriya, Yokaana omubatiza oba Pawulo, si kya nsonga yali ani, bonna balina ekilagiro era bonna bakikola.
Endagaano empya entandiika ne Yokaana omubatiza ng'alabika mu kiseera ekyateekerwawo, eky'okulabirako mu kiseera obunnabbi bwa Baibuli bwe bw'atuukirizibwa mu kujja okwasooka okwa Kristo (Matayo 3). Yokaana omubatiza yalina ekiragiro ekya Katonda. Yali musajja eyatumibwa okuva eri Katonda n'okuyitibwa okwa waggulu era n'ateekateeka ekkuba lya Mukama nga bwe ky'alangirirwa mu Isaaya 43, era ne mu Malaki 3:1 mu ndagaano enkadde. Yali alaga Ekigambo era nnakinywererako okuba obujulizi bwe.
Mu njiri ya Yokaana mu sula esook ne bamubuuza: "Ggwe ani? N'ayatula, n’ateegaana; n'ayatula nti si nze Kristo. Ne bamubuuza nti kale, lw'oli ani? Oli Eriya? N'agamba nti si nze ye. Ggwe nnabi oli? N'addamu nti n'edda, Awo ne bamugamba nti lw'oli ani? Tubaddemu abatutumye. Weeyita ani?" (vv. 19-22). Era n'abaddamu mu lunyiriri lwa 23. Awo n'awa eky'okulabirako mu Kigambo ekiri mu Isaaya 40:3: "N'agamba nti nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti mulunggamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera."
Okuyita mu buweereza bwe abantu bateekebwateekebwa, okweteekerateekera Mukama: "Era bangi mu baana ba Isiraeri alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. Alikulembera mu maaso ge mu mwoyo n'amaanyi ng'eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa." (Luka 1:16-17).