Maranatha! (Weewaawo) Mukama waffe, jangu!
“Weewaawo” (Maranatha) Kye kyali ekyogerwa mu bakkiriza mu kkanisa eyasooka. Babeeranga mu kusuubira kw'okukomawo kwa Kristo era baali ba mutima gumu era n'omubiri gumu. Lino lye lyali esuubi lye baalina mu biseera by'okuyiganyizibwa, eky'eyongera mu maanyi mu mwaka AD 63 wasi wa Nero. Oluvannyuma lwa byonna, Mukama bino bye yayogera edda: “Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga Mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga …” (Yokaana 15:20).
Okusuubira okulamu okw'okukomawo kwa Mukama waffe okwa suubizibwa (Yokaana 14:1-3) nalyo lye lyali esomo erisinga obukulu mu bbaluwa ey'abatume era n'awatali kubuusabuusa mu kubuulira kwabwe.
Yokaana yateeka esira ku bakkiriza bw'ati: “Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.” (1Yokaana 2:28).
Peetero yawandika: “Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.” (2Peetero 1:16).
Yakobo yaddamu n'abakakasa: “Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttogo.” (Yakoobo 5:7).
Pawulo yalina ekyokulabirako: “BW'ATYO BWAYOGERA MUKAMA”: “Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.” (1Abasessaloniika 4:15). Tumanyi nti wano tekiri ku kumu ku kujja kwe okw'enjawulo naye ku kujja kwe okwasuubizibwa mu kukomawo kwa Kristo.
Okukomawo okw'asuubizibwa okwa Kristo kwafuuka esomo ekulu ne William Branham: okuva ku kubikkulwa kw'obubonero mu mwezi gw'okusatu 1963 gwokka, yayogera ku “mugole” emirundi 870. ku kukomawo kwe, Anaawasa omugole ow'omuggulu alitwala bokka abagole abeeteeseteese ewaka awamu naye. Oluvannyuma lwa byonna, obuweerez bw'obunnabbi mu biro byaffe bwalina okuyita abakkiriza ab'atuufu okuva mu mivuyo gy'enzikkiriza zonna nga bayita mu bubaka obw'obwa Katonda era n'okubateekateeka olw'okujja okw'okubiri okwa Kristo. Okuteesa kwonna okwa Katonda kaakano kulangirirwa eri ekkanisa so alyoke alongoosebwe nga bwe yali mu kusooka era esoobole nate mu nkomerero okubeera ng'ekkanisa bwe yali ku Lubereberye.
Oluyoogaano “Weewaawo!” (Maranatha) kilaga okuyayana mu bakkiriza abalindiridde okukomawo kwa Kristo. Maranatha kigambo kya ba Aramaic era nga kirimu ebigambo bingi: Mar = Mukama, ana = waffe, tha = jangu: “Mukama waffe, jangu!”
Mu sula esembayo ey'ebbaluwa ye esooka eri Abakkolinso, Pawulo yawayo ekiwebwayo eky'omuwendo n'ebigambo bino: “Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange. Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.” vv. 21-23).
Waliwo abantu abagala Mukama, bakkiriza ekiwebwayo kye eky'ekisa era n'omukisa gw'obwa Katonda: “Naye bonna abamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye …” (Yokaana 1:12), era waliwo abantu abatakkiriza ekyo ne babeera wansi w'ekikolimo. Buli muntu kin'omu yesalirawo yekka oba akkiriza obununuzi bwonna obw'amalirizibwa. Katonda yayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima (1Timoseewo 2:4). Naye, bokka abalikaabirira erinnya lya Mukama balirokoka (Abaruumi 10:13). “Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.” (Ebikolwa by'abatume 10:43).
Ng'abaggalatiya 1:6-9, abo bonna ababuulira enjiri endala etali gye eyo abatume gye baabuulira n'abo bali wansi w'ekikolimo. Ebigambo by'omutume Pawulo byokya ng'ekimyanso era biri nga ekibwatuka ky'oyo omuyinza w'ebintu byonna: “Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.” (v. 8). amakkanisa gonna ag'abakristayo, am'addini, n'okukkiriza nti gukusinze kulina okubeera ku musango, so bwe kityo ne ku buli mu buulizi.
Nga bwe kiri mu buli kuzibwa obuggya, mu abo kaakano abawulira obubaka obusembayo obw'okuyitibwa era n'okulongoosezamu n'obuweereza obwasuubizibwa nga Malaki 4:5-6 bwe kyogera ne Mukama waffe mu Matayo 17:11 era ne Makko 9:12 – waliwo bangi abayitibwa naye batono abalondebwa (Matayo 20:16). Okuyitibwa kw'ekiseera kino kwe: “Laba, anaawasa omugole ajja! mufulume okumusisinkana!” Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe. Era nga waliwo abagezi n'abasiru. Abagezi be balonde; balina amafuta g'omwoyo, Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya (2Abakkolinso 4:7), era buli Kigambo kya Katonda y'emmere y'obulamu mu bo (Matayo 4:4).
Mu 1Bassekabaka 17:14 tusanga olugero olw'amaanyi okuva mu biseera bya Eriya n'okutuusa mu biro byaffe: “Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.” Omwoyo ogwasuubizibwa enkuba ey'attogo erijja, nga enkuba eya ddumbi bwe y'ajja (Isaaya 44:3, Yoweeri 3; Zekkaliya 10:1; Ebikolwa by'abatume 2:14-21; Yakobo 5:7; era n'endala), era tewalibeerawo kubulwa kw'emmere y'omwoyo (1Timoseewo 4:6). Omununuzi n'ayogera eri abanunulwa. “Yesu n'abagamba nti eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34).
Omuntu yenna kyeyagalire akkiriza okulunggamizibwa kw'omwoyo gwa Katonda (Yokaana 16:13; Abaruumi 8:14) abeerera ddala mu bulamu obulungi mu bifo byonna naye atwala okweteekerateekera mu bumalirivu era nnafuna obusika obw'asuubizibwa obw'obulokozi era ne mu kumaliriza ne guteekebwako akabonero n'omwoyo omutukuvu (Abaefeso 1:11-14; Abaggalatiya 3:14). Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: Kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu. (2Abakkolinso 11:2) ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole (Matayo 25:10).
Ettabaaza, ekyokulabirako okumulisa, abawala abasiru kye balina. Naye basubwa okweteekateeka kwabwe; nabo bakkiriza okuvunuula kw'obusirusiru okw'abantu, naye abagezigezi bakkiriza ebyo byokka ebyawandiikibwa mu Kigambo. Ekyo kyokka ekyawandiikibwa mu Baibuli mu butuufu kye kya Baibuli. Era buli njigiriza y'esigamira ku bujulizi bubiri, bussatu oba n'ebyawandiikibwa ebilara bingi.
Abagezi bajuzibwa omwoyo, ogulabisibwa n'okwagala okutuukiridde okwa Katonda: okwagala eri Ye, eri ekigambo kye, era ne muffe. Bino ebigoberera bye bigendera ddala gye bali: “Era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Ery'okubiri lye lino nti yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.” (Makko 12:30-31). Ebibiri birina okubeera awamu: Omuntu yenna ayagala Katonda naye ayagala ne mugandawe, era kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda.
Abayigirizwa Yesu be yayagala baali baawulira ekyo Mukama kye yagamba eri abalabe baabwe: “Yesu n'abagamba nti singa Katonda ye kitammwe, mwandijagadde nze …” (Yokaana 8:42).
Eri abayigirizwa be Mukama wabwe n'agamba, “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:34-35). Era: “Mbalagidde bino, mwagalanenga.” (Yokaana 15:17). Esira liri ku kigambo ekya yogerwa “Nga bwe n'abagala …” – mu ngeri bweti yennyini.
Omutume Yokaana yalaga Okwagala kwa Katonda eri ffe era n'okwagalana okw'oluganda nga kulabika mu ffe: “Ku kino kwe tutegeerera kwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw’ab'oluganda.” (1Yokaana 3:16).
Ekituufu, obulamu bw'ennyini Okwagala okw'obwa Katonda kwe kwokka “akabonero kakamanyiso” nti tuli bayigirizwa be ab'amazima. Okwagala tekwawula, si na wadde mu bigezo ebizibu; okwagala kutabaganya era kigatta wansi w'embeera yonna; era kye kinyweza okutuukirira (Abakkolosaayi 3:14). mu kusoobola okunonyereza e'ngeri ebintu gye biri n'abuli omu ku ffe mu buntu, tulina okutunulira mu ndabirwamu ey'ekigambo (Yakobo 1:19-27). Omuntu yenna atunulira mu ndabirwamu bulijo alaba omu yekka, si muntu mulala yenna.
Mu 1Abakkolinso 13 okwagala kwa Katonda kulimu byonna era kw'anjulwa gye tuli. Newakubadde twategeera ebyama byonna, yali ayogera n'olulimi lw'abantu ne bamalayika, oba balina ekirabo ky'obunnabbi era n'okukkiriza kwonna, tekyandibadde kya magoba gye tuli singa tetwalina kwagala. Okwagala okwakolebwa kwalabisibwa nga bwe ky'awandiikibwa: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo …” (1Abakkolinso 13:4-8). Buli kimu ekyogeddwako mu mbeera bw'etyo kigendera ddala eri obulamu obw'abalonde. Bwetuti bwe tulina okubaawo mu bulamu bwaffe. Awo omulabe n'alyoka abeera nga tayinza ku tunenya ku nsonga yonna, kubanga ebigoberera bikolera ddala: “… naye ndi mulamu; si ku bwange nate naye Kristo ye mulamu mu nze …” (Abaggalatiya 2:20) – aba mulamu mu ffe. Buli kintu kyonna kijja kuggwaawo, newakubadde ebirabo eby'omwoyo, naye okwagala kwa katonda tekuggwaawo emirembe gyonna (1Abakkolinso 13:8).
Okwagala kwa Katonda; yebikkula yennyini mu kwagala kwe mu Yesu Kristo, Mukama waffe era omulokozi: “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi …” (Yokaana 3:16). Okwagala kwa Katonda kufukibwa mu mitima gyaffe n'okujuzibwa kw'omwoyo omutukuvu (Abaruumi 5:5) era kilabisibwa mu ffe nga ekibala eky'omwoyo (Abaggalatiya 5:22-24). mu ngeri bw'eti, bonna abakkiriza abazaalibwa omulundi ogw'okubiri babatizibwa nga abakkiriza mu mubiri gwa Kristo, ekyokulabirako mu kkanisa Ye (1Abakkolinso 12:12-31).
Mu bbaluwa ey'omulembe gw'ekkanisa ogwasooka, Mukama yemulugunya nti abakkiriza baaleeka okwagala okw'olubereberye (Okubikkulirwa 2:4). tulina okuddayo ku kwagala kuno okw'olubereberye kaakano, ku nkomerero. Nga anaawasa omugole bwakola omugole we ekyokuwebwayo eky'okwagala era ng'alina okukikkiriza mu butuufu okufuuka mugole we, so omuntu yenna ayagala okuba ekitundu ku kkanisa ey'omugole alina okukkiriza ekiwebwayo ky'okwagala n'anaawasa omugole ow'omu ggulu okusoobola okubeera ku mbaga ne ku mbaga ey'obugole (Okubikkulirwa 19:7-9).
Mu lunyiriri 7 kyawandiikibwa: “… kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse …” mu lunyiriri 9 tusoma: “N'aggamba nti wandiika nti baweereddwa abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga.” Obugole era n'embaga ey'obugole byonna bikolera wamu. Kituufu, era ne bulyoka bukakasibwa: “Bino bye bigambo bya Katonda ebyayogerwa eby'amazima.” ku kino twogera n'omutima gwonna nti Amiina.
Okumalirizibwa kw'abanunulwa kulituukirira mu kwagala kwa Katonda n'okutambula okwamaanyi okw'omwoyo, nga bwe kyali ku Lubereberye, era kino ne bonna “… abagala okulabika kwe.” (2Timoseewo 4:8). Wokka bajuzibwa n'okulindirira okusanyusa anaawasa omugole ow'omugulu era nga bakaaba ne mitima gyabwe gyonna: “Weewaawo – Mukama waffe, jangu!”