'
Ensuula y'emabega

Okweyongerayo mu maaso

Ekigendererwa kye kitabo kino kwe ku bannjulira mu bumpi entegeka ya Katonda eri abantu okuva mu ndagaano enkadde era n'empya. Mu butuufu, tuli n'okolera ku ekyo okusingira ddala, waddenga mu n'geri ya nsonga, n'amasomo g'obulamba bwa Katonda. Ebyawandiikibwa bitono byokka n'ebyokulaga bisobola okukozesebwa mu buli somo ely'enjawulo. Okuva ku ekyo buli musomi alina obusobozi okunonyereza ddala mwennyini mu byawandiikibwa ebitukuvu okutuusa nga amazima era n'okulambulurwa okwagalibwa kufuniddwa.

Bangi ku Bayudaaya te bategeera entegeka ya Katonda ey'obulokozi, obw'ali butereddwawo mu Kigambo ky'obunnabbi. Amagezi g'akyo nago gabuzibwa mu kutekebwawo kwo bukristayo okusinga ennyo obukristayo bwafuuka e'nzikiriza eyategeerebwa. Okuva mu kyassa ky'okusatu, kyava ku musingi ogwa tekebwawo n'abatume abaali abayudaaya. Mu butuufu, abakiristayo awo banenya abayudaaya olwo kutta ey'afukibwako amafuta, omununuzi wabwe, nga te bategeera nti kino ky'ali kitundu ku ntegeka ya Katonda. Abayudaaya n'abo tebekkiriza okufulibwa abakristayo n'alyanyi. Mu biseera nga obukristayo bw'egye ku bu Judaism, abakristayo n'abo bava ku ndagaano enkadde era n'awo n'ebava ku musingi gwennyini ogw'okukkiriza, ogw'atekebwawo ne bannabbi. Mu butuufu nti endagaano empya tesobola kutegerebwa awatali nkadde, oba tesobola kwawulibwa okuva ku yo n'ayo yabuzibwa. Ekyavamu, obukristayo ne butandikira mu ky'ekango, nebubeerawo naye nga bayigiriza Baibuli mu matedekero. Kino ekintu kibaawo waddenga 

Oluvannyuma lwo kulaba nti, tekisoboka kisirika nate. Buli muntu yenna anonyera ddala amazima, alina obuyinza okumanya ky'ekimu era n'atwala ebyo Katonda by'agamba mu Kigambo kye. Mu buli kintu, Mukama Yesu yalaganga mu byawandiikibwa by'endagaano enkadde, era n'agulawo okutegeera kw'abayigirizwa be okutwala okutukirizibwa kw'akyo (Lukka 24). Abatume n'abo okusinga ennyo balaganga endagaano enkadde. Mu butuufu, endagaano empya teyawandikibwa mu biseera by'abatume. Okutegeera Katonda n'entegeka ye, tulina okutambulira ku lutindo olw'atekebwawo n'obunnabbi okuva ku ndagaano enkadde okutuuka ku mpya.

Buli yenna awandika ku bulamba bwa Katonda aba ali kukola ku nsonga esinga okwetaga obwegendeerevu. Bingi ebisinga okumanyibwa. Abamu bakkiriza nti Katonda muntu omu, abalala nti abaawo mu babiri, ate abalala bakkiriza, nti abaawo ng'abantu bassatu. Tetugya kutekamu byonna mu mu ebyo ebingi ebisuubirizibwa ebiriwo ku bulamba bwa Katonda. Okutunulira ekifaananyi ky'andi tulambuluridde bulungi, e'ngeri omuntu ne birowoozo ku bulamba bwa Katonda bwe biri.

Mu biseera bya bannabbi era ne mu biseera by'abatume, tewaliwo nsusuubiriza ndala yonna ku Katonda. Awo mu bugonvu waliwo enjawulo yamaanyi wakati w'Okubikkulirwa n'okususuubiriza. Wokka oluvannyuma lw'omusingi gwa Baibuli gulekeddwa, ebirowoozo bya bantu by'eyongerera ddala era n'okulungamizibwa kw'omwoyo omutukuvu ne kubuzibwa. 

Okukkiriza kwa begatta mu Katonda omu, naye bagaana emmere ya Yesu Kristo. Ekitafaana n'ekyo ye jigiriza ey'obussatu eyigiriza ku Katonda mu bantu bassatu. Nga kya kwewunya, abo abaali mu nkulankulana y'obwakaba bwa Katonda okuva mu biseera by'okuza obuggya bamanyibwa n'ejigiriza endala, naye tebakwata ku mutwe guno omukulu ogusinga omugaso. Okutuuka mu biseera byaffe, eby'obuwangwa naye ebitali byamu byawandiikibwa nebisibwa wansi nebikkirizibwa n'abuli ddinni. Mugaso ki amagezi gaabwe ku Katonda kyafuka ekintu ekirala, kilabibwa e'ngeri gye bakitekerawo akabega.

Kulwo kutegeera obulungi akamanyiso akasooka, ekigambo ky'oluebbulaniya ELOHIM, YAKUWA ne YAHSHUA bikozesebwa ebiseera bitono. Amanya bulijo gabadde galaga kye kitegeeza. Mu butuufu, okulambulurwa okw'amazima tekuggya lwa kutegeera Luebbulaniya oba Luyonaani naye wokka okuyita mu mwoyo gwe gumu, ogwa wumulira ku bannabbi era n'abatume era n'egubasikiriza. Eyo y'engeri yokka eri ffe okulaba bye balaba, era n'okuwulira bye bawulira, era n'okutegeera e'ngeri gye bategeera.

Abamu baawa okulabula, “mugezese emyoyo” era mulowooze ku balala kyokka. Buli omu alina okukikola ng'omuntu. Mu nsonga eno, bonna balina okuba n'omukisa okw'awula ejigiriza y'obuwangwa ey'asiikirwa ne Kigambo kya Katonda. Abo abaweereza era n'abo abawulirisa tebabamanyi kituufu nti oku vunuula kwe Kigambo kwe kubuulirwa naye si kye Kigambo kya Katonda ekya namaddala ekyasooka kyennyini. Abasajja abatumibwa era ne baweebwa omurimu ne Katonda batuleetera Ekigambo; Bano abayigiriza eby'eddinni be bavunanyizibwa ku vunuula yonna ey'enjawulo. Tewali muntu yenna alina okuwulira ng'alumiziddwa ku lwo kubalaga kuno. Ekigendererwa kyokka kwe kuweereza era n'okuyamba Ekkanisa ya Katonda omulamu.

Abasomi bonna baweebwe omukisa.

Ekifaananyi ekyo waggulu kiragira ddala Kitaffe n'omuggo ogw'obutuukirivu, Omwana n'omusalaba, era n'Omwoyo Omutukuvu ng’ejjiba.

Kiki kyolaba mu bifaananyi ebyo? - Katonda Omu oba bakatonda bassatu? 

Abantu abassatu bano wansi bakola Katonda Omu. Kino kibeera kitya?

Eri abamu kiyinza okuba eky'ekango okulaba ekifaananyi eky'omukadde eky'obusatu bwa ba Hindu. Endowooza ya bantu ku Katonda ky'ali kigendera ddala emabega mu biseera bya Nimuloodi era ne Babulooni. Tekikirizika engeri abe'nzikiriza y'obukristayo bwe bakiteeka mu nkola. Buli ategegeera enjigiriza y'ebifaananyi kye bilaga y'eyanza okulambulurwa okuva mu byawandiikibwa, nga bye bisinga okuba ebikulu.

Ensuula eddako