Ewald Frank
1985-01-06 10:00 AM
2024-12-08
Omusomo: Ebikolwa 22, 1-24: “Buli omu ku ffe alina okusisinkana ku bubwe ne Mukama!”
Nga kya kitalo okubeera omwana wa Katonda.
Bino si bigambo byokka, naye mazima, ago Katonda waffe era Omulokozi waffe, Yesu Kristo, g’akakasa.
Era olw’ekyo tulibasanyufu nnyo eri Mukama waffe, nti ffe, "edda otutali bantu be," abatasaanira kisa kye, era nange sisaanira, naye yadde kiri bwekityo, kirungi nnyo, kya kitalo nnyo okubeera omwana wa Katonda, okufuna obumanyirivu obwe’kisa kya Katonda, okubeeramu kubeerawo kwe, n'okumuwa ekitiibwa n'okwebaza.
Katonda atuyambe.
Tuwulidde dda ekigambo eky'omuwendo ennyo era ekyekitalo, era tujja wamu wano enfunda n'enfunda.
Era nga ffena bwetukimanyi, si muze, wabula kukubiriza kw’emitima gyaffe, okukubiriza mu bulamu bwaffe obw’omunda.
Bwe ndaba baganda baffe leero abava ewala, nneebuuza ekibuuzo, nti kiki ekituleta awamu?
Kiki ekikubiriza mu mitima gyaffe n'okukisongako?
Bwe nkileta bwe ntyo, kwe kwagala kwa Katonda.
Okwagala okwo Katonda kwatesse mu mitima gyaffe, era kye Kigambo kye era n’omwoyo we atukubiriza okukikola.
Katonda atuyambe.
Katonda ayambe abo bonna abayinza okwagala okubeera wano, abanoonya okubeera n’okussa ekimu, okumusinza n’okutendereza erinnya lye.
Naye si buli muntu nti aweebwa omukisa, naye tukimanyi nti buli muntu na buli wamu omukisa guweebwa okusinza Mukama wamu n'okussa ekitiibwa mu linnya lye.
Era naffe twagala okuyimirirawo ku lwa omu n’omu era bulijjo buli omu akwata munne mu kusaba, kubanga tetumanyi bbanga ki.
Tuwulira buli kimu ekigenda mu maaso okutwetoolora.
Kyewunyisamu ko katono.
Kiwulikika nga tekisoboka nnyo ate nga kituufu.
Abantu boogera ku mirembe buli wamu.
Kiggumizibwa buli wamu era nga ffenna bwe tumanyi era bwe tuwulira, bafunye eby’okulwanyisa nga bwe kitabangawo.
Katonda atuwe kino ng’ekyokulabirako kye tusobola okulaba, tuyige okuva mu kyo, tusobole okuteekebwamu omwoyo ogw’amazima, n’omwoyo ogw’amaanyi ge, n’omwoyo gw’okwagala kwe, tulyoke tusanyuke okumusisinkana amangu.
Katonda atuyambe okutunula waggulu gy’ali yekka n’okugulumiza erinnya lye.
Oboolyawo nandyagadde okusoma essuula okuva mu kitabo ky’Ebikolwa bya batume.
Ffenna tumanyi ebyawandiikibwa ebitukuvu.
Bitusomebwa emirundi mingi nnyo era mpozzi ne tubisoma n’okusingawo era tutegeere nti Katonda ayogera naffe okuva mu byo nga tukungaanye wano.
Ebikolwa 22.
Wano omuntu, bwe nnyinza okukireta bwe nti, yeewa obutuukirivu mu linnya lya Mukama mu maaso g’abo abaali balowooza nti balina ekisuubizo ky’ebyo byonna ebyaweebwa bo, nga bwetwawulidde eggulo, era kyabayitako.
Katonda atulage ekisa tuyigire ku kino.
Wano Pawulo ayogera n’agamba nti, Ebikolwa 22, okuva mu lunyiriri 1:
Abasajja, ab'oluganda ne bakitaffe, muwulire okwewozaako kwange, kwe mbagamba kaakano.
Era bwe baawulira nti ayogera olulimi Olwebbulaniya eri bo, ne beeyongera okusirika.
Era nagamba nti Mazima ndi muntu ndi Muyudaaya, azaalwa mu Taluso, ekibuga mu Kilikiya, naye nakuzibwa mu kibuga kino mu bigere bya Gamuliyeeri, era nayigirizibwa okusinzira ku nkola etuukiridde ey'amateeka ga bakitaffe, era nanyiikira eri Katonda, nga mmwe mwenna bwe muli leero.
Era nayigganya bwe ntyo okutuusa okufa, nga nsiba era nga mpaayo mu makomera abasajja n'abakazi, nga ne kabona asinga obukulu bwampera obujulirwa ku bintu byonna eby'abakadde, eyo gye nafuna ebbaluwa eri ab'oluganda, n’egenda e Ddamasiko okuleeta abo abaali basibiddwa eyo e Yerusaalemi, okubonerezebwa.
Awo olwatuuka nga bwe nnali ntambula olugendo lwange era nga nsemberera e Ddamasiko ku ssaawa nga 06 ez’omutuntu, amangu ago ne wayaka okuva mu ggulu ekitangaala ekinene okunetooloola, ne ngwa wansi ne mpulira eddoboozi nga ligamba, "Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?" Ne mmuddamu nti, "ggwe ani, Mukama wange?"
N'agamba nti, "nze Yesu ow'e Nazaaleesi, gw'oyigganya." N'abo abaali nange ne balaba ekitangala ne batya, naye ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange.
Era ne ngamba nti, "nkole ntya, Mukama wange?" era Mukama n'agamba nti, golokoka ogende e Ddamasiko, era eyo gy'onootegeezebwa byonna by'olina okukola."
Awo bwe nnali sisobola kulaba olw'ekitiibwa ky'ekitangala ekyo, nga nkulembeddwa omukono gw'abo abaali nange, natuuka e Ddamasiko.
Era Ananiya omu, omusajja eyali yeewayo eri Katonda okusinzira ku mateeka bwe gali, ng'alina alipota enungi eri Abayudaaya bonna abaabeerangayo, n'ajja gyendi, n'ayimirira, n'agamba nti, "Ow'oluganda Sawulo, ffuna okulaba kwo."
Awo mu ssaawa y'emu ne mmutunuulira waggulu, n'agamba nti, "Katonda wa bakitaffe akulonze omanye by'ayagala era olabe." oyo Omutuukirivu, era owulire eddoboozi ly’akamwa ke.
Kubanga oliba mujulirwa we eri abantu bonna ku by’olabye n’ebyo by’owulidde.
Era kaakano, lwaki olwawo?
Situka obatizibwa, onaabe ebibi byo, ng'okoowoola erinnya lya Mukama."
Awo olwatuuka, bwe nnakomawo e Yerusaalemi, bwe nnali nga nsaba mu yeekaalu, nnali mu mukusimagira, era ne mmulaba nga ag'amba nti, "Yanguwa, ove mangu mu Yerusaalemi, kubanga tebajja kukkiriza bujulizi bwo obukwata ku nze."
Era ne mgamba nti, "Mukama, bakimanyi nga nasiba ne nkuba mu buli kkungaaniro abo abaali bakukkiriza.
Era n'omusaayi gw'omujulizi wo Siteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nnyimiridde awo, nga nkkirizza okufa kwe, ne nkuuma ebyambalo by'abo abatta ye."
Era n'agamba nti, "genda, kubanga nja kukusindika ewala enyo eri ab'amawanga."
Era ne mmuwuliriza ekigambo, n'oluvannyuma ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bagamba nti, "aggibwe mu nsi afaanana bw’atyo, kubanga tekisaanira kubeera mulamu."
Awo bwe baali bakaaba, ne basuula engoye zaabwe, ne bakasuka enfuufu mu bbanga, omusirikale omukulu yalagira aleetebwa mu lubiri, n’alagira akeberebwe nga akubwa emiggo, asobole okumanya lwaki bamukaabira bwe batyo.
Okutuuka wano, ekigambo kino kya omuwendo era kitukuvu.
Tewali kintu kyonna kya kwongerwa wano ku bye tuwulidde, bye tusomye, era nga tutera okubisoma ffekka.
Naye ku lwange, ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kintu kya njawulo, kintu kinene.
Buli lwe nkisoma, Ndaba, era bwemba nnyinza okukireta bwe nti, bulijjo nsanga ekitangaala ekipya, ebintu ebipya ebinzigulirwawo.
Nsobola okutegeera n’okukimanya, era ffenna tusobola, nti ekiseera kyonna, nga bwe tumanyi wano, Omutume Pawulo yasibibwa ku lw'obujulirwa bwe, ku lw'oyo gwe yakkiriza.
Era tukisomye wano, engeri gye yayimirira oba gye yaweebwa omukisa okwogera n'abo abaali basunguwadde, abaali basunguwalidde oyo gwe baamukomerera, gwe baakuba, gwe batta, eyafiirira ensi, teyakoma ku kufa, yaziikibwa mu ntaana, yazuukira mu kitiibwa mu bafu, yalinnya mu buwanguzi mu ggulu.
Era tumanyi okuva awo nate nti agenda kujja okukima abo abalina obujulizi bwe yabawa.
Ekibuuzo kye twebuuza oba kye nneebuuza kiri nti, nze, tulina obujulizi buno obwa Yesu Kristo mu ffe?
Tulina ebikozesebwa ebyo byeyaleeta mu nsi eri ffe, n’obukakafu, weewaawo, n’omukisa, n’ebyo by’ayiwa ku abo abaali balindirira ye ne ku biragiro bye yawa.
Nga bwe twawulidde ekiro ekikeesezza olwaleero, baalina okuwa obujulizi ku bye baali bawulidde, okulaba nga bambazibwa amaanyi era bwe batyo nga basobola okugenda mu nsi yonna ne bawa obujulizi ku mawulire amarungi.
Oo, nga kya kitalo okumanya nti ne Pawulo oba Sawulo eyaliwo nga bwe tumanyi, n’obunyiikivu bungi eri amateeka, nga bw’alaga wano, nti naye yali ng’abo, nti naye yayimirira ku lwa meteeka ga bakitaabwe era yali awakanya abo abaali bagoberera enjigiriza eyo ey’oyo eyakomererwa, nti yayigganya abo abaawa obujulirwa ku bye baawulira, bye baalaba ne bye baategeera, nti yabasiba n’abayigganya.
Yakilambuludde wano.
Yafuna ebbaluwa n’agenda e Ddamasiko okubaleeta e Yerusaalemi basobole okubonerezebwa eyo olw’okukkiriza kwabwe.
Naye tuwulidde era tusomye, ye kennyini awa obujulirwa wano n'agamba nti, "nga bwe nnali mu kkubo amangu ago mu ttuntu," kiki ekibaddewo?
Tuyinza okugamba nti, kiki ekiyinza okwaka mu ttuntu okusinga enjuba?
Kiki ekiyinza okuba eky'ekitiibwa okusinga enjuba?
Naye wano tuwulidde era ne tusoma, nti si ye yekka, naye n’abo abaali naye, baakitegeera.
Ow’oluganda Branham yakigamba dda emirundi mingi nnyo era akiddanganamu, nti empagi eno ey’omuliro, ekitangaala kino ekimasamasa, ekyawerekera Abayisirayiri, kyarabikira Pawulo, oba kyali kirabikidde Sawulo, eyali agenzeeyo n'obuyinza okukulembera abo abaali bagenda okubonerezebwa.
Naye n'aggwa wansi n'amanya, yali amanyi bulungi, tekiyinza kuba mulala okuggyako Mukama, eyali akulembera abantu ba Isiraeri okufuluma.
Era nga bwe mgambwe, ow’oluganda Branham atera nnyo okulaga, nti Omuisiraeri, Omuyudaaya, bw’ategeera ekintu okuva ku mpagi y’omuliro, aba amanyi bulungi ye ani era ani ayogera okuva mu kyo.
Katonda akole mu ggwe ne mu nze ne mu ffe ffenna, tulyoke tutegeere Oyo ayogera eri ffe okuva mu mpagi y’omuliro, okuva mu kitangala kye kitiibwa kye.
Tuwulidde, Pawulo agamba wano, nti yawulira eddoboozi, yategeera ebigambo ebyayogera naye, kubanga yali ategekeddwa okukikola.
Abalala baalaba ekitangaala, naye tebawulira ddoboozi.
Yayogera gye bali.
Era nabyogedde emabegako, kisoboka kitya?
Katonda alabikira Sawulo mu kkubo.
Ayogera gyali.
Ayogera naye n'amugamba nti, "Kale, genda e Ddamasiko." Tayindibadde nga ayinza kugenda mu maaso na kwogera eri ye?
Teyasobola kumuwa biragiro bye yalina okutuukiriza?
Nedda.
Nga bwe tuwulira emirundi mingi, ow’oluganda Frank yakigamba enfunda n’enfunda, Katonda yeetaaga abantu bayitamu okwogera.
Katonda yeetaaga abantu okutambuza obubaka bwe.
Katonda yeetaaga ebibya eby’ebbumba, ebibya ebimenyamenya.
Ate naye yabijjuza Omwoyo we okutambuza obubaka.
Era bwatyo yalina okugenda eDdamasiko.
Era waaliwo omusajja eyo, nga bwe twakasoma, ayitibwa Ananiya.
Era yayanjura Pawulo nga ow’oluganda.
Tukimanyi nti Mukama wa maanyi gonna, Mukama amanyi byonna era amanyi gw'ayinza okukozesa.
Naye wano nga bwe tusomye mu bino byonna, Pawulo bwe yali amaze okuwa obujulizi bwatyo nga Katonda bwe yali ayogedde naye, okutuusa mu kaseera kano, kati bwe yawa obujulizi n’agamba nti yali ategekeddwa okuyimirirawo ku lwa Kristo n’okukakasa nti ye yali omutuufu eyali agenda okujja, okutuusa olwo ne bawuliriza olwo buli kimu mu bo ne bakijeemera.
Tumanyi, tuli mu kiseera ky’ekimu.
Tekyakyuka.
Naye bwe tuwulira oba ddi obujulizi bwa Kristo Yesu bwe buweebwa era amaanyi g'ekitiibwa kye ne gamanyisibwa, ensi etandika okusunguwala n'egamba nti bavudde mu birowoozo, bagenda mu sanyu lingi.
Owoluganda Russ kino yakyoyogeddeko dda mu ennaku eziyise.
Tumuwa ekitiibwa oyo eyabonaabona ku lwaffe.
Tumuwa ekitiibwa oyo atujjuza okutuuka ku kitiibwa kye n'okumutendereza.
Okutuuka wano tuwulidde, bonna baali bakkakkamu.
Naye Pawulo bwe yawa obujulizi ku oyo alina obuyinza bwonna mu ggulu era ne ku nsi, baali batabuse ne baleekaana nti "agende, agende."
Katonda atuwe ekisa mu kiseera mwe twesanga tutegeere mu buli kintu nti Mukama wa kisa era musaasizi era okwagala kumu n’okwegomba okumu kwe tulina, kwe nnina kwe kugamba nti ekigambo ky’ekisa kikyaweebwayo era njagala okukoowoola ffenna nti tetwagala kusigala nga tutudde naye okwagala okufuluma.
Ekiseera kinene kiyiseewo.
Mukama atuwe ekisa nti essaawa ezisembayo ze tukyalina okutambulira wano, nga ow’oluganda Frank bweyagamba, yaguma okwogera ebintu okutuusa omwaka guno naye kati takyasobola kugumiikiriza.
N'olwekyo twagala tuyimirire wamu okutuusa obubaka bw'obulokozi omulundi omulala Mukama asobole okwogera omulundi omulala era ku kino yeetaaga abantu nga bwetusomye wano.
Yayogera ne Sawulo naye nga yeetaaga Ananiya amulagirire.
Katonda tuyambe tubeere nga ebbaluwa ebikuudwa bwetyo, nga Pawulo yennyini bw’agamba, okusomebwa buli muntu okuweesa erinnya lye ekitiibwa.
Amiina.
Okutendereza n’okwebaza bibeere eri Mukama.
Nga kyewuunyisa okuwulira n'ofuna ekigambo mu ngeri eno n'okuwulira ku Katonda bye yakola lumu olwo ne wabaawo obwagazi obw'amaanyi ennyo "Ai Mukama, ddamu okole bw'otyo."
Bw'osoma bw'otyo n'olyoka owulira nga kyogerwa n'okubuulirwa awo ddala kiyimusa ggwe n’ogamba "Mukama, tetuli wano kuwulira Katonda bye yakola edda, tuli wano okufuna obanyirivu ku by'akola leero."
Era tugenda kusaba mu kaseera katono, mpozzi ow'oluganda Russ alina ky'agamba.
Njagala kuggumiza mu bufunze ekigambo ekyasomedwa okuva mu nnabbi Isaaya.
Era eyo Mukama agamba nti "Ennyumba yange ejja kuyitibwa ennyumba ey'okusabiramu amawanga gonna."
Tukiggumiza emirundi mingi ekimala wano.
Si nnyumba y'okuyimba, nnyumba y'okwogera, nnyumba y'okubuulira.
Nedda, nnyumba y'okusaba.
Ennyumba abantu mwe "basinza mu mwoyo ne mu mazima."
Ennyumba Katonda gy’abikkulira abantu be.
Ennyumba mw’awulirira n’addamu essaala.
Ennyumba mwe tumusisinkanira era n’atusanga.
Era tukimanyi nti Mukama bwe yatambulira ku nsi eno, yalongoosa ennyumba ye, n’akyusa ebintu ebitonotono, yakuba abantu abamu ekikonde n'agamba nti, "ennyumba yange ejja kuyitibwa ennyumba y'okusaba."
Naye mugikoze ki?
Bwe tutunuulira bino byonna, tukitegeera nti Mukama yesigaliza ebintu ebimu.
Si ffe abalongoosa, si ggwe, si nze, wabula ye.
Tetusobola bulungi kulongoosa nnyumba yaffe, ka tugambe endala, n'okusingawo eyiye.
Naye bwe tukungaana mu maaso ge n'omutima omutuufu n'ogamba nti, "Mukama, tukungaanyiziddwa wano mu maaso go.
Twagala okutuukiriza okusaba Kwo, ggwe kennyini kye wayogedde mu Yokaana 4, mpozzi 24.
Ekiseera kijja abasinza bonna ab’amazima lwe banaasinziza Katonda mu mwoyo ne mu mazima.
Si mu Yerusaalemi, si ku lusozi olutukuvu, si mu kifo ekitukuvu, wabula gye bali, mu mwoyo ne mu mazima.
Ffena kati tuwulidde era ne tusoma kino okuva mu bbaluwa eri Abaruumi, nti tulina "okutendereza Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo” n'omutima gumu mu mwoyo gumu, mu kukkiriza kwe kumu, mu kunyezibwa kwe kumu, nti okuyita mu ye twafuuka abaana ba Katonda.
Kristo omubereberye, naffe ababereberye, Ye Kabona Asinga Obukulu, naffe bakabona, eggwanga lya bakabona, Ye Kabaka, naffe tulibeera bakabaka naye.
Buli kintu kibaddewo, era nga bwe kyawandiikibwa wano nti, “Mukama Katonda akungaanya abagobeddwa mu Isiraeri, agamba nti naye ndikungaanya abalala gy’ali, nga oggyeeko abo abakungaanyiziddwa ye."
Yayagala okukung'aanya okuva mu bantu bonna, ennimi zonna, n'amawanga gonna.
Nga bwe yagamba Ibulayimu nga tannaweebwa mateeka nti, "Mu ggwe, ebika byonna eby'ensi binaaweebwa omukisa."
Katonda yalangirira dda obulokozi obwali bugenda okujja mu mawanga mu ndagaano enkadde.
Kitugyekko, era tukikkirizza n’essanyu lingi.
Ekigambo ekirala, ekyankwatako naddala ku mutima, bwe mukisomako, kiki Mukama kya akoze, era awo mu kiseera kye kimu balina okukimanya nti n’abasajja ba Katonda abakulu, bannabbi n’abatume, baali bamanyi Mukama bye yabagamba byokka era nga balina okulinda okubawa ebiragiro ebirala.
Oluusi tuba n’endowooza nti abasajja ba Katonda bonna bulijjo bayimirira waggulu wa buli kimu, nga bakuguka mu buli mbeera.
Nedda, tekyali bwe kityo.
Baali beesigamye ku Katonda.
Buli ddaala lye baakwata, baali beetaaga obuyambi bwa Katonda.
Kyogera wano ku musajja omukulu bw'atyo alina okuyitibwa okw'ekitalo bwe kuti, mu bufunze yategeezebwa, bwe yalaba ekitangaala, wano kigamba nti, "Yangamba..." mpozzi okuva mu lunyiriri 8:
Naddamu nti, 'ani ggwe, Mukama?’. N’agamba nti, ‘nze Yesu Omunazaaleesi gw’oyigganya.” Era abo abaali nange ddala baalaba ekitangaala, naye tebaawulira ddoboozi ly’oyo eyayogera nange.
Kiri era kikyali bwe kityo nti ffenna twetaaga okuwulira eddoboozi lya Mukama kinnoomu.
Tusobola okulaba ekitangaala kye kimu, nga otudde wansi w’ekirangiriro kye kimu, naye buli muntu alina okuyogerwako kisekinomu.
Awo kiba kintu kya muntu omu wakati wa Mukama n’omuntu ssekinnoomu.
Bonna bayinza okwetooloola ekitangaala kye kimu, naye Mukama bw’ayogera, ye ayogera naawe nga omuntu omu era gyendi nga omu.
Mulimu amazima amangi.
Ate awo n’agamba, nga bwe nnagambye mu bufunze nti, "Awo ne mmubuuza nti, "Oyagala nkole ki, Mukama?"Mukama n'addamu, “Situka ogende e Ddamasiko.” Eyo ojja kufunira amawulire agakwata ku buli kimu kyolagirwa okukola."
Era yasooka kutegeezebwa nti ajja kuzibula, nti alina okubatizibwa, nti ebibi bye bijja kunaazibwa okuyita mu kukkiriza mu Yesu Kristo.
N'oluvannyuma Mukama n’ayogera naye nate bwe yali mu yeekaalu n'agamba nti, "Golokoka," oba waliwo awalala wekyawandikibwa?
Mu ngeri yonna, wano mu lunyiriri 21 kigamba nti, "N'agamba nti, 'genda, kubanga nja kukusindika ewala enyo eri ab'amawanga.'"
Tulowooza ku Isaaya 49, olunyiriri 7 oba 8, w'egamba nti Mukama yali wa kufuuka "ekitangaala eri amawanga gonna."
Era ne kibaawo.
Byonna byaliwo.
Y'ensonga lwaki emboozi eno yankwata ku mutima.
Tuzzeemu okutuuka ku nsonga nate.
Twagala ebiragiro okuva eri Mukama.
Twagala okumanya kye tusaanidde okukola.
Si bwe kiri n'akatono okumala nze okukola ekintu, kuba buli kiseera njagala kuba nga nkola.
Ekyo buli omu ky'ali.
Waliwo entegeeka ennene ez'eddiini buli wamu, era buli muntu alina ky'amanyi, buli muntu alina ky'akola.
Naye Katonda ali ludda wa?
Yebikkulira wa okusinziira ku kigambo kye?
Ludda wa ebisuubizo byonna we bisobola otuukirira?
Ludda wa enteekateeka y'obulokozi weyita?
Ekyo kye kikulu gye tuli.
Mazima ddala si ku kintu kyokka okukolebwa, naye nga Katonda asobola okukola ekintu okusinziira ku kigambo kye mu nnaku zino.
Era nti okwo kwe kwegomba kw'emitima gwaffe nga tuli wano wamu, ne tuwulira ekigambo kye, nti tujja gy'ali ne tugamba nti, "Mukama, tufune ekisa mu maaso go." Si kukola bwa kintu kyokka, wabula okuba n'ekitundu mu by'okola. Si kuba na ntegeeka yokka wano, naye tubeere ekitundu ku nteekateeka Yo ey'obwakatonda mu kiseera kino."
Ekyo kiri munda mu ffe.
Era olw'okuba Katonda yennyini yakiteeka awo, tekiyinza kuba kirala, nti tujja kuyingizibwamu enteekateeka eno eya Katonda okutuusa lwe tunaalaba okutuukirizibwa olwo ne tulaba ekitiibwa kya Katonda ne tusisinkana Mukama waffe mu bbanga.
Byonna Katonda by’asuubizza biba bituufu, obanyirivu n’ebibaddewo, era bituweebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu, oba nga bikwatagana ku seekinomu, oba mu nsonga z’enteekateeka y’obulokozi, oba n’ekanisaa, ne bwe kiba ki.
Buli kimu kiweereddwa wano, era kino tukisanyukira era tukisiima, ne bwe kiba nti oluusi kirabika nga tetulina buyambi, abatalina maanyi mpozzi n’obutaba na ssuubi.
Naye ffe ekyo si sikikulu.
Tulina essuubi eddamu ennyo Katonda lye yatutaddemu, essuubi ery’obutuukirivu n’okukkiriza ekyo ekisimbiddwa mu Kigambo kye.
Era "okukkiriza kuno, ennanga eno etuuka emabega w'olutimbe" okutuuka ku Ssanduuko y'endagaano, ku nnamulondo y'ekisa, okutuuka ku ssa Katonda we yeebikkulidde.
Era tukitegeera nti olutimbe lukutudwa , nti ekkubo litangaavu, era nti ddala tusobola okwesiga Mukama waffe, okumuweereza, n’okusinga ekyo, okwesiga, okwesiga nti ajja kumaliriza omulimu gwe mu buwanguzi.
Kyandibadde tekisaanira singa Katonda waffe teyamaliriza mulimu gwe n’ekitiibwa kinene, n’amaanyi, ne mu kitiibwa kye.
Ajja kukikola.
Era bwetutyo tetwetunuulira ffekka oba ku mbeera, wabula eri Mukama.
Lowooza ku Sawulo eyatunula n'essanyu nga Siteefano akubibwa amayinja pakka kufa.
Yakuuma engoye n'amatira nti omusajja ono eyali aleeta obuzibu kati yandiggiddwawo.
Era Mukama amulabikira, omusajja atalina ddala birowoozo bya mirembe, naye amangu ago Mukama n’amwebikkulira, Obulamu bwe bwonna ne bukyuka.
Olunaku olupya lwamukera.
Era bwatyo omuwandiisi w’ennyimba ayimba, "Nnasisinkana Mukama. Nasisinkana Mukama. Olunaku olupya lwankera."
Bwe tusisinkana Mukama, olunaku olupya lutukeera, ekkubo eppya, obulamu obupya, olw'ekisa.
Era olwa kino tuli basanyufu eri Mukama waffe.
Amiina.
Tuyimirira olwo kusaba.
Kitaffe ow’omu ggulu, nkwebaza n’omutima gwange gwonna olw’ebigambo bye tusobodde okusoma n’okufumiitiriza leero n’olw’okwegomba okw’obiziba okuzze mu ffe okukuwulira, okulaba ekitangaala kyo, okuba n’obanyirivu bwo, okufuna ebiragiro byo.
Mukama omwesigwa, wabeerewo Ananiya gw’osobola okukozesa, gw’osobola okuyitamu okwogera.
Ayi Mukama omwesigwa, olina amakubo n’engeri.
Tukwebaza olw’ekyo.
Fuula ennyumba yo ennyumba ey’okusaba.
Kibe ekifo eky'okusinzizaamu gye tukuwera okwebaza okukusaana.
O, tukutendereza, tukwebaza, tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa.
Oleka ekitangaala kyo okwaka era wa yogera naffe seekinomu.
Emitima gyaffe gyali ku muliro.
Tukwebaza olw'ekyo.
Alleluya eri erinnya lyo ery'ekitiibwa.