Ebbaluwa Omwezi gw'okutano 2011
Okulamusa okw'enjawulo eri mmwena mu linnya ery'omuwendo erya Mukama waffe Yesu Kristo ne Kigambo okuva mu Lukka 21:28:
"Naye ebigambo ebyo bwe bitanuranga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwa mmwe kunaatera okutuuka."
Okusinzira ku byafayo bye kkanisa, ku lunaku olubereberye ku nnaku omusanvu, olunaku Mukama waffe lwe ya yingira yerusalemi wakati mu kukankanyizibwa nga bwe kya yogerwako mu Zekkaliya 9:9 era nga bwe kya lagibwa mu Matayo 21, Kyaaliwo mu gw'okuna nga 2. Ekyo Dr. C. Larkin Kye ya wandiika mu kitabo kye "Entegeka ya Katonda ne kirubirirwa kye mu mirembe gyonna," ekyo n'owoluganda Branham yali naye ya kisoma era okuva kw'ekyo yasiima ku biro by'emirembe omusanvu egy'ekkanisa.
Ffe tetumanyi obanga olwo lwe lunaku olutuufu; naye nga bwe kimanyiddwa-bulungi eri mmwe mmwena, ogw'okuna nga 2 1962, lwali mazima ddala olunaku olusinga omuwendo gyendi ku bulamu bwange neri okuweereza Mukama. Awatali kuyitibwa kuno n'okutumibwa okwa Katonda, nze okusingira ddala sandikoze bino byonna ebibaddewo mu myaka amakumi ana mu mwenda egiyise. Okwagala kwange n'okusuubira kwange kaakano kuli eri omwaka gwo kujaguza okutuuka mu ekyo abakkiriza bonna ab'amazima lwe bakakasa obwanannyini ku busiika bwabwe obwa Katonda nti nga bwe kibatekeddwako okuba abaana abalongoofu era abasiika ba Katonda era abasiika awamu ne Kristo. Kino kye kumanyira ddala okwo kuzibwa obuggya nga Katonda bwe yasuubiza eri ffe era nga bwali kiteeka mu ffe olwe kisa kye.
Fenna tukyali mu mbeera yo kwe kanga musisi owamaanyi mu Japani, okukankana okwensi okungi namayengo amangi nga gatuukira ddala ekigeero ekisuuka 20 mu buwanvi bwa kwo, era n'okusanyisibwawo kunji okw'obutwa okubaddewo.
Wabaddenggawo obutabanguko bungi obuva ku mbeera y'obudde; nga obwakabaawo, ki labika nti buli kweyongeera ddala namaanyi okusinga bwonna obuze bubeerawo. Musisi eya kuuba Japani mu gw'okussatu nga 11 yali omu ku wamaanyi mu bitabo by'ensi yonna. Mu kaseera ke kamu, tuli kugobeerera ddala obutabanguko bwo bufuuzi mu mabuuka ga afrika ne mu makati ge buvanjuba.
Emikutu gye pulizigganya zeyongedde okubigobeerera n'amawulire, naye nga abakkiriza ffe kye tusinga okwagala bye byawandiikibwa ebitukuvu kye bigamba. Mazima kw'ekyo waaliwo ebyawandiikibwa bingi mu ndagaano enkadde n'empya ebyogera kwe byo ebiribeerawo okutuuka ku nkomerero.
Mu Matayo 24 abayingirizwa ba buuza Mukama waffe, "Tubuulire bino we biribeerawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'akemirembe gino okuggwaawo? Yesu n'addamu n'abagamba nti mulabe omuntu yenna tabakyamyanga kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti nze Kristo; bali kyamya bangi muliwuulira entalo n'entunttumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga te birirema kubaawo: naye enkomerero g'ekyali. Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu, naye ebyo byonna lwe lubereberye olw’okuluwmwa." (v.3-8).
Okweteekateeka okw'enkomerero mu kavuyo akangi ku maze okwelangirira, okusingira ddala ne musisi mu mwaka oguyise ne mu mwaka guno mu mawanga ag'enjawulo, kubanga bali "lubereberye olw'okulumwa." obulumi bw'okukola obulijja ku nsi yonna, okusingira ddala musisi, obutabanguko bw'obudde, enjala era n'akatubagiro ke by'obufuuzi, bujja kweyongerera ddala. Enkomerero ejja newakudde teri n'omu amanyi olunaku oba sawa. Tukyali, tuli n'okwetegereza nga bino byonna ebyayogerwa nga bituukirira kubanga obununuzi bwe mibiri gyaffe busemberedde.
Mu Isaaya 24 tusoma
"Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo. Ensi eri tagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiira; n'okusobya kwa yo kuli gizitoowerera, era eri gwa n'etegolokoka nate." (vv.19-20).
Mu Ezeekyeri 7:5-6 era ne 12-13 eyogera:
"Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti akabi, akabi kamu: laba, kajja. Enkomerero etuuse enkomerero yennyini etuuse, ezuukuka eri ggwe: laba, ejja. Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so natunda aleme okunakuwala kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna kubanga atunda talidda eri ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu bwo bulamu bwe."
Pawulu ali n'okuba nga yali alowooza ku biro by'ennyini ebisembayo, mmwebyo bye tutuusemu, bwe yawandiika ebidako mu 1 Bakkolinso 7:
"Naye kino ky'engyogera, ab'oluganda, nti ebiro biyimpiwadde, okutanula kaakano abali n'abakazi babe ng'abatalina: era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n'abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina, n'abo abakoza eby'omunsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo." (vv.29-31)
Mu kaseera katono akayise, Bano abanonyereza abakenkuufu bo esiira balitadde ebugwanjuba bwa U.S.A. Basuubira "Ekyo Ekinene," musisi ow'amaanyi asingako eyasanyawo San francisco mu gw'okuna nga 18, 1906. Emabega nate ettaka ye yassamu eCalifornia era ne liguuka mu buwanvu 1,280 era abantu 3000 okutuuka 4000 baffa. Ow'oluganda Branham yali abyogeddeko edda mu 1965 era naye ya kiteekako esiira okukankana okw'ensi okw'amaanyi n'amayengo agali butiikira ebitundu ebinene ebye bugwanjuba bwa U.S.A. Ya ggamba nti kubanga ku lwa musisi ono ow'amaanyi, ekifo ekinene okusingako California kiri kka mu nnyanja, kw'ekyo Hollywood era ne Loss Angeles teri beerawo nate. Abantu nkumi baliffa. Bino biggya kubaawo nga Mukama waffe Yesu Kristo tana komawo. Ensi yonna eri mu kukyamukirira nga bwe kitabeerangawo. Kiki ekigenda okuddako? Tusigaziza banga ki?
Ng'ogyeko okusanyizibwawo okwe mirundi essatu mu Japani, obunyiolagano mu mawanga g'obuyisiramu gonna ly'esomo ekulu mu mawulire agaliko ennaku zino. Abakulembeze b'ensi bavunikibwa wano na wali; buli kintu kyonna kiri mu kwasibwayasibwamu. Buli awuulirisa kumpi era nga addamu ebintu ebyemabega byonna amanya nti ebintu byonna mu nsi z'obusiramu bilwanyisa Isiraeri. Mu kiseera ekisooka oluvannyuma lw'emyaka 36, emeri biri enwanyi ezabayiran ziyise mu muga gwa suez canal era betegeze mu nnyanga ya mediterranian. Omuyisiramu asinga okuva mu siriya akaseera akatono emabega yatisa tisa okusanyizibwawo okw'anamaddala okuddako okwa Isiraeri kujja kuva mu Ddamasiko. Ebyawandiikibwa ebitukuvu bigamaba kino kw'ekyo: "Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba kifunvu eky'ebyagwa." (Isaaya 17:1). Kino kija kubeerawo mu mazima nga bwe kyawandiikibwa. Akanyiri ke 12 nako kali mu kutukirizibwa "Woowe, oluyoogano olw'amawanga amangi, agawulogoma ng'okuwulogoma okw'ennyanja; nokuwulukuta okw'amawanga agawulukuta ng'okuwulukuta okw'amazzi ag'amaanyi!"
Mukama waffe era omulokozi bino ya by'ogerako mu Lukka 21:25: "Era walibaawo n'obubonero ku njuba n'ekumwezi n'ekummunyeenye; ne ku nsi amawanga gali nakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma okw'ennyanja n'amayengo…"
Ebigambo mu Matayo 24:14 bya kamanyiso ak'enjawulo eri ffe: "N'enjiri eno ey'obwakabaka – okusingira ddala enjiri ezijuvu nga bwe yalangirirwa mu lubereberye. (Ebikolwa by'abatume 2:37-41) – eri buulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja.” Obwo bwe bubaka obusembayo era tuli n'omukisa ogw'okubusituula. Abo bokka mu mazima ddala abaali ekitundu ku kkanisa y'omugole be balye kwekeera mu kuyita okusembayo: "Laba, anaawasa omugole ajja! Mufuulume okumusisinkana.” (Matayo 25:1-10)
Okuyita mu Nnabbi Ezeekyeri edda, Katonda yali ya yogera nti "Enkomerero ejja!" Era enkomerero ejja. Kubanga bonna abakkiriza ab'amazima aba Baibuli, mu n'geri edala kitegeza entandiikwa empya, ne wakubadde okututuukirizibwa okw'ebisuubizo ebye ggulu empya n'ensi empya.
Japani yali yamala dda okumanyirira okusanyizibwa kw'ayo ne bomu z'obutwa emabega edda mu 1945. Okuva obukulembeze mu Tokyo te gobeerera okufanana Germany eyava mu lutalo mu gw'okutano 1945, Omukulembeze we ggwanga ly'Amerika Harry S. Truman yalagira okusuula bomu ey'obutwa namuzisa ku Hiroshima mu gw'omunana nga 6, 1945, era nendala ku Nagasaki mu gw'omunana nga 9, 1945, awo omuwendo gw'abantu ogukomenkereza mu mitwalo kumi bafiirawo. Waali n'okubaawo omutabaganya ow'anamaddala nti obukulembeze bwa U.S yatuuma omuzanyi wa firimu owa Hollywood Hal Herman okubegattako mu ku gguluka mu nyonnyi era agende azanye firimu ku bomu ezo. Bye yali alabye byamulekera ddala ng'akangiddwa era yanakuwala nnyo nti byonna bye yali asobola okulowooza kwali nkomerero ya nsi. Mu kaseera katono oluvannyuma, yafuna obumanyirivu bwe nafuusibwa era nafuuka omubuulizi eyaweebwa omukisa. Ya tegekako n'okubuulira okw'enjawulo mu Germany, okusingira ddala mu bibuga nga Hamburg era ne Berlin, era naye yasabira abalwadde. Bwe yawa obujulizi mu lu kungana lw'abapentakoti mu kibuga Hamburg mu 1949, ya yogera ku w'oluganda Branham. Olwo lwe lwali olunaku lwange mu bulamu lwe nawulira erinnya "William Branham." Mukama Katonda ya kulembeera amakubo gange era nali n'omukisa okusisinkana Ow'oluganda Branhama mu 1955. Obumanyirivu obw'enjawulo n'okukolagana ng'abantu n'owoluganda Branham kwali kungatta naye, obuweereza, ne Katonda era ne byawandiikibwa ebitukuvu mu n'geri yennyini eye sanyu.
Mu gw'okuna nga 1, 1962 ow'oluganda Branham ya yogera ng'akidigana ku kutereka emmere mu terekero. Ya gamba, "Mu kiroto kino ndina okutereka emmere mu terekero mu eweema eno." yeyongera n'ayogera nti, era mbadde nyimiridde wano wennyini, era nali mpita mu bidomolera ebinene eby'emmere enungi gy'entalabangako." Nawo ow'oluganda Branham n'awandiika emmere ez'enjawulo: lumonde, enva z'emirandira, ebitungulu, n'enva endirwa, nebilala. Okunogola: "Ya ggamba: 'tereka mu bungi bw'ayo' era nali nyimiridde awo nga kiterekera ddala munda." Mu gw'okuna nga 2, 1962, Mukama n'ayogera gy'endi ku njala ey'amaanyi egenda okuggya era n'ayogera ku mmere erimu buli kirungo, ab'oluganda era ne banyinyaze bonna okuva mu biseera ebyo ba kkiriza ddala nti mazima ddala twatereka emmere erimu buli kirungo kyonna, nga tumanyi nti akatubagiro n'okusanyizibwa n'enjala kulijja eri eggwanga lyaffe. Naye kw'ekyo Nnabbi wa Katonda ya ggamba mu mwei gw'ekumi nebiri nga 3, 1962, nti simutegedde kubanga Mukama ya tegeeza emmere y'omwoyo. Ebisingawo ku kino bimanyiddwa eri mmwe mmwena.
Mu biseera bya Ibulayimu waaliwo enjala (Olubereberye 12) era ne mu Isaaka naye (Olubereberye 26). Buli muntu amanyi ku njala mu biseera bya Yusufu (Olubereberye 41-47). luusi yajja mu Isiraeri kulw'enjala (Luusi 1); yali ya londebwa okuba nyina wa Obedi era bw'atyo jjajja omukazi omukulu owa Dawudi waaliwo nawo enjala (2.Samwiri 21). Yoswa yalagirira abantu, "mweteekereteekere emmere…" (Yoswa 1). Mu biseera ebyo, waalingawo njala ya mmere. Mu kusooka te kyategerekeka gy'endi nti yali mmere ya mwoyo bwe nalagirwa, "Mutereke emmere mu biterekero by'ayo!" Mu n'geri eddala, Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli Kigambo ekiva mu kammwe ka Katonda. Mukama waffe ya ggamba, "Yesu n'agamba nti eky'okulya kyange kwe kukolanga ey'antuma by'ayagala."
Mu biseera ebyo, sa tegera nti Katonda yali yamala okw'ogera bino edda okuyita mu Nnabbi Amosi: "Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lw'endiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere n'ewakubadde ennyonta y'amazzi naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama…" (Amosi 8:11).
Nga kitegerebwa, ow'oluganda Branham ya ggamba nti "Katonda ajja kutuma enjala Ye Kigambo kye, era n'emmere gy'onateereka kye kigambo eky'asuubizibwa eky'ebiro bino." Nate n'agamba, "Lindirirako okubawa emmere okutuusa ng'ofunye eddala yonna."
Nga okuyita oku gendera ddala eri omugole, "Laba anaawasa omugole ajja; mufuulume okumusisinkana…" (Matayo 25), tusanga ebyawandiikibwa ebigoberera: "Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi Mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?" (Matayo 24:45).
Tu kkiriza Buli Kigambo, n'ewakubadde kyawandiikibwa mu Nnabbi Malaki, mu njiri ya Matayo, oba awantu wonna awalala mu Baibuli, era n'olw'ekisa kya Katonda tusobola mu butuufu okukitekawo mu tegeka ya Katonda eri etegeka y'obulokozi. Mu biseera byonna, Katonda yali n'abasaja mu abo be yatuma okusinzira ku tegeka y'obulokozi, nga Nuwa Ibulayimu nabala nga Musa yali n'okutumibwa (Okuva 3); Isaaya yali n'okutumibwa (sula 6); Yeremiya yali n'okutumibwa (sula 1). Yokaana omubatiza yali musaja eyatumibwa okuva eri Katonda. Pawulo yali n'okutumibwa (Ebikolwa by'abatume 22:21). Abatume n'abo ba tumibwa (Matayo 10; Lukka 9). Buli muntu wa Katonda yategerera ddala kyawandiikibwa ki ekyali ku ye era ne ku buweereza bwe kubanga kyali kya mu bikulirwa n'omwoyo gwa Katonda. Mu malaki Mukama yasuubiza, "Laba, ndi Nnabbi…” era nga Yokaana omubatiza amaze obuweereza bwe, okulangirira kwa kolebwa: "N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna." (Matayo 17:11).
Mukama waffe ya ggamba, "…Nga Kitange bwe yatuma Nze, nange bw'entyo mbasindika mmwe." (Yokaana 13:20).
Kya mugaso okukkiriza ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba kyokka. Kino okusingira ddala ki genda eri ekkanisa mu kulaga ebiseera ebisembayo eby'entegeka y'obulokozi. Kaakano nti enkomerero etuuse era n'okukomawo kwa Kristo kutuuse ddala ku mulyango, tuli n'okunonyereza buli njigiriza mu byawandiikibwa ebitukuvu, nga abakkiriza mu Beroya bwe bakola (Ebikolwa by'abatume 17:11). Eky'ennaku, wabaddewo okuvunuula kungi okusansanyiziddwa mu bubaka ogutalina musingi gwa Baibuli, naye waliwo obulimbibwa kumu okusingira ddala nga y'etana, newakubadde kabenje: nga ekyongerwamu okusinzira ku bigambo Mukama bye yayogera eri ow'oluganda Branham okuyita mu kitangala ky'obw'aKatonda mu gw'omukaga nga 11, 1933.
Mu bujulizi bwe mu gw'okubiri nga 10 1960, mu San juan, Puerto Rico, y'addamu ebigambo nga bwe byali: "Nga Yokaana, Omubatiza, Bwe yatumibwa okuteekateeka okujja okwasooka okwa Kristo, Obubaka obukuweereddwa bwe buli teekateeka okujja okw'okubiri okwa Yesu Kristo." Kw'ekyo ow'oluganda Branham yeyongera oku kiteekako esiira n'okwogera bino: "Si nti nze agenda okuba omuteesiteesi, naye obubaka bwe buna teekateeka "
Nate, mu nkulungulo y'abo abeyita ab'obubaka ku nsi yonna, okufulumisibwa kw'ekyo ekya US ki dibwamu: "Nga Yokaana Omubatiza bwe yatumibwa okuteekateeka okujja okwasooka okwa Kristo nawe otumiddwa okuteekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo." Ekigambo "Obubaka" tekyatekebwa mu kiwandiiko ekyo; ate nga, Obubaka buno bwe buna teekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo, nga Katonda mwennyini bwe ya kisalawo.
N'olw'ekyo ani mutuufu? Mukama eyayogera mu kitangala kye kimu eri Pawulo n'eri ow'oluganda Branham, Eyadinganira ddala ebigambo bye yali amugambye? Oba abo abagumira okugunjawo obulimba bw'ebutyo? Mukama n'ow'oluganda Branham baba fudde balimba, nga oyo kaakano agamba nti asitudde obubaka ng'abutwala mu nsi zonna n'okutumibwa kwa Katonda. Kisigala emirembe gyonna nga mazima nti Ow'oluganda Branham ye yali Nnabbi eyasuubizibwa era eyaleta obubaka okuva eri Katonda obwalimu ebyama byonna okuva mu lubereberye. 1-Okubikkulirwa 22 bya bikulwa era bye birangirirwa eri amawanga gonna – obubaka bw'okuyita abalonde, okweyawula okweteekateeka, n'okuzibwa obuggya.
Mu lu kungana mu bungeereza mu Gw'okubiri nga 20, 2011, ow'oluganda ya ggamba, "Ow'oluganda Frank, tukuwulide ng'oyogera mu kudigana nti tewandibadde na bubaka bwonna awatali buweereza bw'ow'oluganda Branham. Tu ggamba leero nti awatali buweereza bwo kye kimu tetwandibadde na bubaka."
Newakubadde omukolo omunene mu kw'egatta ku kubikulwa kw'obubonero omusanvu nakwo te kutegerebwa era ku vunuulwa mu bulimba. Mu gw'okubiri nga 28, 1963, Ow'oluganda Branham yali ku lusozi Sunset mu Arizona bwe yawulira ebibwatuuka omusanvu ebyamaanyi awo bwe ya ggambibwa okudayo mu Jeffersonville kubanga obubonero omusanvu bugya kubikurwa. Ow'oluganda Branham yalaga ku biseera era nate ku bibwatuuka bino omusanvu, ne bwe yayogera ku kukkiriza kw'okukwakulibwa. Nabo bawulikika okuvunanyizibwa kw'akyo era mu kulaga kw'okubikurwa kw'obubonero omusanvu. Okubikurwa kw'obubonero omusanvu ggwe mukolo omunene ogw'ebiro byaffe mu kulaga entegeka y'obulokozi! Buli kintu kye twagala okutegera kyabikurwa mu bubonero omusanvu. Newakubadde okukkiriza kw'okukwakulibwa nakwo kwa tekebwamu. Okubikkulirwa kwa maririzibwa. Tewali kisobola kwongerwako. Katonda talina kye yerabira. Ebibwatuuka omusanvu eby'Okubikkulirwa 10 mu n'geri eddala tebyegatta ne kkanisa, naye ne Isiraeri, Mukama wa akka wansi nga Malayika w'endagaano. Naye tuwandise ku bino emirundi minji era ne tubiraga mu bulungi okusinzira ku byawandiikibwa ebitukuvu era n'ebyo ow'oluganda Branham bye yayigiriza.
Awamu n'abaddu ba Katonda wonna, n'eyongera okusitula obubaka buno obwa Katonda eri amawanga eg'enjawulo ag'ensi. Obutukuvu bwe, Ekigambo kye ekya bikurwa kyatekebwa mu ffe. N'okuusa kaakano sikirizangako n'okuvunuula n'okumu, era siri kikola, okuvunuula era n'obulimba sisobola ku bugumira – abo balimba era bava eri Setaani, abalimba hawa mu lusuku Edeni. Mukama yampita okulangirira Ekigambo kye n'okubawa emmere y'omwoyo, era gya ku kikola nga Katonda wampa ekisa n'amaanyi kw'ekyo. Ow'oluganda Branham ya ggamba, "Bangi beyanza Mukama kwebyo byakoze, ne batunulira kwebyo bya genda okukola ne bayita kw'ebyo byali kukola kaakano." Mu kulaga kw'okuyitibwa kw'abalonde, okweyawula okweteekateeka kwe kkanisa y'omugole, kiri ku kuzibwa obuggya okujuvu ne kw'ekyo Katonda kye yasuubiza mu Kigambo kye. Okutegera olunaku n'obubaka! Baweereddwa omukisa abalina amaaso agalaba n'amatu agawulira, n'emitima egikkiriza.
Abo ku ffe abafuna obubaka bwe biro by'enkomerero, basobola okutegeera obubonero bwe biro by'enkomerero. Enjala y'omwoyo esobola okuwulirwa, era tu kimanyirira buli mwezi mupya nga abantu wakati w'olwenda oba lukumi okuva mu mawanga agenjawulo ebulaaya yonna era n'okuva mu mawanga amalala ge kunganyiza wano ku kitebe kyobuwereza. Abantu nga lunana abantu kinomu n'amakuganiro amalala nabo ba twegattako okuyita ku mitimbagano okuva mu mawanga 88 agasasanyiziddwa ku semazinga zonna ez'ensi. Okuyita ku mitimbagano be gatta mu kulangirira Ekigambo kya Katonda ekyabikurwa. Obubaka buno obutekebwa ku ma telefayina ag'enjawulo ga bukyusibwa mu nimi kumi ne biri. Mu kwongera kw'ebyo, Buli mwezi tufulumya. Entambi ezilaga obuweereza obubaawo buli ntandiikwa y'omwezi eziwerera ddala enkumi tano. Biro ki; lunaku ki olw'ekisa! Lwe tusuubira okutukirizibwa kw'ebyo Katonda bye y'asuubiza okubaawo mu biro byaffe, newankubadde gye buggya mu maaso. Buli muntu yenna owa Katonda awa ekitiibwa omubaka, ategeera obubaka, era aba n'ekitundu kw'ebyo Katonda byakola kaakano. Katonda tuleka tutegere amakubo ge kubanga twasanga ekisa mu maaso ge. Mwesigwa era ali maliriza omurimu ggwe ne bonna abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala okutuusa mu lunaku olw'ekitibwa era n'okusuubira kw'etulindiridde okw'okukomawo kwa Mukama waffe. Omununuzi aliba ne kkanisa etukkiridde, etalina bbala newakubadde olufunyiro (Abaefeso 5:27), kubanga omugole we yeeteeseteese (Okubikkulirwa 19:7). Halleluya, Amiina!
Amawulire agakwata ku buweereza obw'ensi zonna bwandibadde buwandikiddwa na buli mwezi. Si mubabaka naye obubaka, Ekigambo kimaliriza ekyo kye kyatumibwa mu bonna aba kifuna. Ye Mukama omwesigwa mwennyini awa ensigo eri omusizi n'ebyokulya eri omuli (Isaaya 55:10-11). Okusima okwenjawulo eri mmwena kulwo kusaba kwammwe n'okuwagira emirimu gya Katonda. Empeera yammwe eriba nene. Amiina.
N'okutumibwa kwe
Br. Frank