'
Ensuula y'emabega

Ebbaluwa Omwezi gw'okussatu/n'ogw'okuna

Abaagalwa aboluganda ne banyinyaze abewala n'okumpi, balamusa mu n'geri y'omukwano era n'obukakamu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne byawandiikibwa okuva mu kubikkulirwa 4:11,

"Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna."

Ekitundu ekiddibwamu mu luyimba "Osaanidde …" lufuuse oluyimba lwaffe olw'ettendo lwe tuyimba ne mitima gyaffe gyonna nga tusinza Katonda, Mukama waffe. Mu mazima, ekitabo n'obubonero omusanvu tekikyali kigale; ekirimu kyonna kya bikurwa okutuusa ku sula esembayo. Endiga ya Katonda yatwala ebibi by'ensi ku ye mwennyini era n'attibwa ku lwaffe ku musalaba. N'omusaayi ggwe Omununuzi yagula ababe; ya bayita okuva mu mawanga gonna era n'ennimi zonna n'abafuula bakabaka era bakabona. (Okubikkulirwa 5:1-10; a.o.).

Okuva mu kubikkuka kw'obubonero tu tambudde n'ebigere ku kifo ekitukuvu eky'okubikkulirwa, mu n'geri esinga obulungi. Buli kintu Katonda era n'abikkula eri omuddu be Yokaana ku kazinga ka Patumo kaakano abaddu ba Mukama basobola oku by'etuusako. Ow'oluganda Branham yali kibya ekyalondebwa ebyama by'ekitabo eky'atekebwako obubonero bya bikkulwa mu biro byaffe.

Peetero yali musajja owe kiseera eky'asooka n'okubikkulirwa okw'enjawulo okwa Yesu Kristo, era yaweebwa ebisumuluzo eby'obwakabaka bwo muggulu (Matayo 16). Ya sangibwa nga tukiridde okubuulira okw'asooka ku lunaku lwa bapentakokti (Ebikolwa by'abatume 2), olunaku ekkanisa bwe yatandikibwawo. Okubuulira okusembayo okw'omuddu wa Katonda yenna ow'amazima kulina okuba era kuliba nga kwe kumu nga bwe kwali emyaka 2000 egyayita mu Yerusalemi. Bw'ekityo n'okubatizibwa okusembayo bwe kuli kolebwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era ekirabo ky'omwoyo omutukuvu kiri buulirwa ne kimanyirirwa nga bwe kyali ku lubereberye (Ebikolwa by'abatume 2:38-41); Ebikolwa by'abatume 8:14-17); Ebikolwa by'abatume 10:34-48; Ebikolwa by'abatume 11:12-18; Ebikolwa by'abatume 19:1-7). nga okukomawo kwa Yesu Kristo tekunaba kubaawo, okuzibwa obuggya kwonna, ebintu byonna we bizibwa mu n'geri yaabyo ey'asooka era entuufu, eri n'okuyigirizibwa era ne manyirirwa, okusinzira ku kisuubizo (Malaki 4:5-6); Matayo 17:11; Makko 9:12; Ebikolwa by'abatume 3:17-21; Yakobo 5:7-11).

Pawulo yali musajja we kiseera ekyo eri oyo okuteesa kwonna okwa Katonda kwali kwa mubikkulirwa. Byonna eby'abikkilirwa eri abatume ne bannabbi bya londebwa eri abaddu bonna aba Krisito era ne kkanisa yonna. Nga Pawulo yali Mutume era muyigiriza (2 Timoseewo 1:11), bw'ekityo bonna abaddu ba Mukama basigala mu jigiriza y'emu ey'abatume Ebikolwa by'abatume 2:42). tebali buulira njiri endala (2 Bakkolinso 11:1-3); abaggalitiya 1:1-12); bali n'okujulira mu mazima ng'ejigiriza ya Baibuli era abikuma nga te bitekeddwamu bwenzi. (2 Abakkolinso 4:1-6). Omutume mu butuufu alaga obuweereza obwa tekebwawo ne Katonda mu kkanisa mu byawandiikibwa bino, "Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika be byama bya Katonda. Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa." (1 Abakkolinso 4:1-2). Okuva edda ebyama bya Katonda ebya kw'ekebwa mu ntegeka ya Katonda ey'obulokozi bya bikkulwa gye tuli, kirina okuba omurimu gwaffe okuba abesigwa nga twegedereza mu butuufu bw'akyo nga tugabana n'abalala.

Obutafaana na kintu kyonna mu biro byaffe, Ow'oluganda Branham yasobola okulaga abantu ba Katonda byonna ebyabikkulwa eri Peetero, Pawulo ne Yokaana, mu bulamba bwabwe bwonna. Nga omuddu wa Katonda era eyakakasibwa nga nnabbi ow'obwa Katonda omutuufu, yali yaweebwa omurimu okulongoosa byonna okubizayo mu mbeera zaabyo ez'asooka (Matayo 17:11; Makko 9:12). Ebintu byonna, mu jigiriza ne mu bikolwa, byali biri n'okuddibwamu okuzimbibwa ku musingi ogw'asooka ogw'abatume ne bannabbi (Abaefeso 2:20). Buli muddu wa Kristo mu biro byaffe aliba mugonvu era nafuna ekifo kye ekituufu n'etegaka y'obwa Katonda n'obulokozi. Agenda kw'eyongerayo n'obuweereza bwe kulw'okuzimba omubiri gwa Kristo mu kkanisa okutuusa nga abaana ba Katonda bonna batuuka mu bumu bw'okukkiriza, era n'amagezi go Mwana wa Katonda (Abaefeso 4). Ekkanisa y'omugole erina okwegatta ku anaawasa omugole: Ye gwe mutwe era nga ffe tuli bitundu ku mubiri gwe. Ayagala okutambula era n'okukolera wakati mu babe be yalonda era abantu abayawulibwa. Kubanga ye Katonda waffe; era ffe tuli bantu ba muddo gwe, era endiga y'omukono gwe. Ye Kitaffe era tuli baana b'obulenzi era n'ab'obuwala (2 Abakkolinso 6:14-18). 

Si kyama nti amakkanisa gonna ga tambulira mu makubo gaabwe bennyini era ne gaba n'ejigiriza zaabwe n'obuwangwa, eky'okulabirako mu gw'okubiri 2006 abakyise enkumi ssatu aba amaddinni 347 ba kungganira mu kibuga kya Porto Alegro (Brazil) okulaga obumu bwabwe nga bye yongerako era n'okusseekimu nga bakoleera wamu na makkanisa ga bapentakoti. Naye twewulira okukakibwa okubuuza ekibuzo: Kiki okwegatta kw'enzikkiriza ne by'obufuzi kye kulina okukola ku kw'egatta kw'obwa Katonda mu Yesu Kristo? N'agamba, "Nze mubo, nawe munze, batuukirirenga okuba obumu …" (Yokaana 17:23). Ekyo mukisa omubi, mu kw'egatta kw'ensi bino ebiddako bikya genda mu maaso, "Ndi mu kkanisa yange era oli mu kkanisa yo; Nzikkiriza kye njagala era nawe okkiriza by'oyagala era bw'etutyo tukola obw'egasi obutukiridde mu kwe yongerako."

Okusinzira ku bisuubizo mu byawandiikibwa, okwegatta kw'abo abali ekitundu ku mubiri gwa Yesu Kristo kaakano ku genda mu maaso n'obusobozi bwa Katonda obusinga era namaanyi ge, nga bwe gakola mu kkanisa ey'edda, "Mu mwoyo omu fenna tw'abatizibwa okuyingira mu mubiri gumu …" (1 Abakkolinso12, okuva ku kanyiriri ke 13). Okubatizibwa kwa Baibuli n'omwoyo omutukuvu kwegatta ddala ku kubatizibwa kwa Baibuli okw'amazzi okwa bakkirizan (Ebikolwa by'abatume 2:38-39; Ebikolwa by'abatume 8:15-17; Ebikolwa by'abatume 10:44-48; Ebikolwa by'abatume 19:5-6). Ebyo eby'asooka by'ebyokulabirako byokka ebituufu ebya tekebwawo gye tuli mu biseera by'abatume birina okusigalawo emirembe gyonna okuba eky'okulabilako kulw'enjigiriza yonna n'obulamu mu kkanisa emu ey'amazima.

Mu n'geri endala, kaakano tulaba e'ngeri , wansi w'okuweebwa obuyambi mu by'enfuna nga biva mu Roma, ebya yogerwa ku nsi, eby'obufuzi, era n'okwegatta kw'enzikkiriza okw'ebulaya biri kubeerawo mu maaso gaffe mu kw'etegeekera eby'obufuzi by'ensi. Amakkanisa agazaalibwa kaakano gaddayo eri nnyina wago. Ekigambo kya Katonda kilaga okwgatta kuno nga "Babulooni ekinene." Edembe era n'enkola y'okwegatta likwatiridde byona e'nzikkiriza n'obuwangwa. Ne wankubadde nga tumanyi bino byonna ebiganda mu maaso, ekigendererwa kyaffe ekikulu kiri kwebyo Katonda bye yasuubiza eri ababe ku lwe biro bino mu Kigambo kye era ne byali kukola mu biseera bino mu makati gaabwe, eky'okulabirako okukyusa emitima zaffe eri ba kitaabwe ku lubereberye, mu jigiriza ne mu bikolwa. 

Ensuula eddako