'
Ensuula y'emabega

EBALUWA - Mwezi gwa kubiri 1978

Baganda bange abagalwa!

Njagala kubaramuzza mu linya eryo’muwendo erya Mukama Yesu Kristo ne Yer.20:9, “Era bwe njogera nti siimwogereko so sikyayogerera mu linya lye, kale mu mutima gwange muba ng’omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera”.

Omwaka 1977 guuze era ne gugenda. N’okuyingira okw’omwaka 1978, tutuse mu masanganzira amalala amakuulu ennyo. Oba oly’awo eri abalaala, entandika y’omwaka yali emalamu amaanyi. Tusobora okukozeesa ekisera kino okuba abamalirivu okusingakko bwetubade okuwereza mukama. Omulimu munene guli mu maaso gaffe. Katutunulire mu ggulu era twekebere benyini n’ebintu byetukkiriza tutwale n’ebyo okuva mu byawandiikibwa. Oba oly’awo tuleme kunonya kwewozaako okukakasa embulira ku mwaka 1977, naye tukkirize ekigambo kya katonda okuba ekitufu, “teeri muntu amanyi olunaku oba essaawa ey’okulabikiramu kwe”.

Mu mwaka 1972, omwoyo omutuukuvu yali akyinteseeko okugolola ebintu ebitontono bwe nakyalira amawanga ag’enjawulo. Kubanga olwe ssiira ey’enjawulo eyatebwa ku mwaka 1973 ne 1977, era nawuulira nga nkulembeddwa okukwata ku nsonga ezimu kubiwandiiko byange ebyamakulu mu kitabo kyange ekyasembayo. Abaamu bayugumizibwa n’enkwata yange eyali enambulukufu, naye kati enkumi z’abantu basiima. Teeli muntu n’omu wewawo alimanya obulumi bwe meeme bwe nayitamu nga ngolola ebimu ku bintu. Oba oly’awo, nandirese ebintu ne bisereba, nnengeenda nabuli muntu ne nyumirwa omukwano gw’aboluganda bonna, naye ekigambo kya mukama mu mutima gwange kyali nga kyaka nga omuliro gwe baagaliza mu magumba gange. Nali nga nnina okukyogera. Okwejusa kwange kwokka ge mazima nti neyatula amaanya mu kitabo kyange ekyasembayo ne nkosa ab’oluganda. Njagala kwogera wano nti sirina kyonna ku mutima gwange kibi eri ow’oluganda yena kubo. Nsobora okunyegera ow’oluganda yena mu kwagala okwa mazima okwa Katonda.

“Era tumanyi nti eri abo abaagala Ktonda era abayitibwa ng’okutesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw’obulungi”. (Bar. 8:28) Katonda akimanyi, mubutufu nga teli kintu kirungi ekyanditubadeko okusinga okutuwa omwaka guno 1978. Kitufu, ow’oluganda Branham yayogera ku mwaka 1977 ku bintu bisatu eyo mu mwaka 1960 ne 1961, naye kiki ekyakolebwa nagwo? Mitima mingi egya menyeebwa ne girekebwa mu bweralikirivu kubanga olw’enkozesa enkyaamu.

Mu saasira ensavu eza Danyeri, ayogera ku mwaka 1977, – nga ye jubiiri yensanvu, okugenda waggulu okwo’mugole omunamawanga n’okukomawo okwa Kristo eri Abayudaya. Akyogera mu butangavu: “Saakimanya kino pakka jjo. Nakijja okuva mu abasoma ebyafayo…” Teyagamba nti kyamubikulirwa na mwoyo mutuukuvu okuva mu kigambo, naye yakimanya nga akijja mu bitabo ebyebyafayo. Agamba, “Era ndimusanyufu eri mwami Smith owe kkanisa y’adiventi olw’ebirowoozo bye. Ndimusimu nnyo eri omusajja omwevu enyo Larkin olw’ebirowoozo bye…” Yandibaadde nga akyali musiimu n’olwalero? Ayogera ku myaka 1954 egyawebwa Abayudaya okutusa AD 33, weebaganira Kristo, era nate ayogera, “singa ky’ekisera ekimu ekyawebwa eri abanamawanga, awo…” Tagamba nti bwekiriba, naye singa bwe kyaali. Nga sisobora kuukanya n’embera, kubanga tewali musingi gwa byawandiikibwa gwabyo. Nakiwa ekittibwa kubanga ow’oluganda Branham yakikozesa. Okutebereza okuli nga bwekutyo kulemerelwanga. Katonda yeeka yavunanizibwa ku kigambo kye, si ku nanku za mwezi, oba kubalirira okw’obusoomi oba kutufu oba kukyamu.

“Gwali mu mwaka 1933 nentebereeza nti waliberawo obuzibu mu mawanga ga Bulaya amagaate nga omwaka 1977 tegunaba kutuka oba mu mwaka ogwo gwenyini ogwa 1977.” Abamu baali baadamu ekigambo kino ate nga abalala bogera n’obuvumu ne empaka ku kino. Kakano waliwo okusirika ku nsi ku kino, tukkiriza nti tekyaliwo.

Waliwo enjawulo wakati wo’kutebereeza n’obunabbi. Mu kutebereeza, omuntu ayogera yadde nga nabbi. Mu bunabbi, Katonda ayogera okuyita mu muntu. Yayogera nga atebereeza, “nyinza okuba omukyamu, nyinza okukyisubwa…” Katonda tabangako mukyamu era Katonda tasobola kukyisubwa. Bwe yagamba, “bwati bwa yogera mukama!” tekyalemererwa.

Wayinzika okubeerawo okutebereeza mu bunabbi, naye okutebereeza ku bwabwo tebubera bunabbi. Wano obutategera we buyingiridemu. Abamu bakitute nti okutebereeza kwa nabbi kuli n’okukwatibwa nga obunabbi era kubulirwe. Naye tetukitegera nga awo tuba tulikuwa obutakoola nsobi eri omuntu, okusinga okuwa Katonda yeeka? Okwolesebwa mukama kwe yamulaga mu 1933 mazima kugenda kutukkirira yadde nga tekwatukkirira mu 1977. Kino ky’ekisera okutunula era tusabe, tuleme kwogera mu mitima gyaffe, “Mukama aluddewo okujja”. Ekintu kyona kisobola okuberawo akasera kakano.

Tuli n’okukkiriza nti tewandibadewo kukosebwa kwonna okwandikoledwa, singa ebyawandiikibwa ebyo byalekebwa mu biifo byabyo ne entegeza yabyo. Ow’oluganda Branham teyali nabbi kyokka, eyafuna ekigambo buteleevu okuva eri Katonda, naye yali muntu eyasoomanga biki abalala byebayogeranga.

Ntunulidde obuwereeza obw’enjawulo ne nanku ne nyikke. Emeeme ez’omuwendo zabuzibwa kubanga enjogera enddala yafusibwa enjigiriza n’etebwa waggulu we kigambo. Abo bagezizako okuteka ow’oluganda Branham wagulu ennyo baleese ekivume kineene nnyo ku ye. Abaamu abakyafubikana okuba abanjuzi abe bigambo bye era abanyonyozi ab’okwolesesebwa kwe bategere nga tekikora. N’olwekyo benyini begyakko okubera abawerereeza be kigambo.

Ow’olugandda Branham ayogera, “…nakyuka ne ntunula era nendeba amawanga ga bulaya amagatte nga gaali nga enjazi ezifuwiddwa waggulu. Era amawanga gaali gaka nga entuumo y’omuliro mu nduli oba ekintu ekiterebwakko omuliro, nentunulira paka gyensobola okulaba era nga gano amawanga gafuwiddwa waggulu…” Omuntu yena asobola okufula enjaazi ezifuwiddwa wagugulu okuba ez’omwoyo? Ow’oluganda Branham yateka obw’omwoyo ku kwolesebwa okwo musanvu oba ku birala? Obbanga, ddi era waa? Obanga nedde, lwaki mugezako okukikola?

Singa entandikwa y’omwaka guno tebadde ey’okutegera nnyo mubumanyirivu netuletera okusimba obuwereza bwe kigambo okusoka era netuleeka ebirala eri Mukama? Okujako nga tulese okunyonyola kwonna, tetusobola kutandika mu kuubo tuufu ne Katonda. Lwaki nga omuwereeza alina kukuguka mu kintu kimu ekitaleta kintu kyonna naye okubuzibwabuzibwa? Malala mangi? Engeri ey’okubeera waggulu kwe kukkiriza okubera owa wansi eri ffena.

Ekipya, enjigiriza ye bibwatuka omusanvu eyeyiiza ensi. Lwaki mukiifo eky’okuleeta okuuza obupya obulindiridwa mu mugoole, teli wabula obutakaanya n’okukuba empaka byebivudemu? Ate kiki ku linya empya erya Kristo, eryali n’okubikulibwa mu bibwatuka, nga nabbi bweyagamba? (Obuboneero 158) Okiraba envunula yonna ye bagala eweebwa, naye mu mazima, ekintu ekisooka tekimanyidwa. Kigezese n’ekigambo era tekiyimirira.

Abalalala bamala ebiseera byabwe n’okunyonyola omuvuzi w’embalansi enjeru. Mu kabonero akasooka, sitani alabibwa nga avuuga embalasi enjeru, oluvanyuma akyuka mu langi enddala. Mu Kub. 19, Kristo mwenyini alabibwa nga ajjira ku mbalasi enjeru. Amaaso ge nga gaali nga ennimi z’omuliro era elinya ayiitibwa ekigambo kya mukama. Wa awalala ebyawandiikibwa we byogera ku mulala avuuga embalasi enjeru?

Eriyo abo abagezaako okuvunula okwolesebwa kw’ensisira era ne bakiteka mu kukwatagana n’okuzukira. Mbuzaako, kino kisoboka kitya? Obeera otya ne wolutaali n’obuwereza bw’ensisira ku kuzukira? Baibuli etubulira, “Baaba nkulaga ebyama. Ffene ffena tetugenda kwebaka, naye tulikyusibwa”. Katonda yebazibazibwe olw’ekyo. Mu kukwatagaana n’okwolesebwa kw’ensiisira, ow’oluganda Branham ayogera, “omukyala yali eyo okuwa obujuriizi ku kooma akakwata entambi,era n’abuzibwa; kiki ekyaliyo mu kasenge akatono?” Nekakasa nga tekyetagisa muntu yenna kuwandika kintu kyonna nga okuzukira kuwedde. Mu kisera ekyo, si kuwonyezebwa, naye okukyusibwa okw’emibiri zaffe kuriberawo, si mu kasenge katono, naye mu nsi yonna.

Bangi ku batukuuvu b’endagano enkadde baazukkira ne Kristo. Baali n’okurinda ennanku 40 paka nga yetegese okugenda mu ggulu. Kyasaasanyizibwa wonna nti waliberawo ekisera ekye nanku 30 – 40 eky’obuwereeza obw’enjawulo wakati w’okuzukkira n’okukwakulibwa. Bweba nga eriyo amanyi waa ow’oluganda Branham we yabulira kino mu butangavu ku lutambi lyonna, ngya kusiima okukiwulira ko. Bintu bingi bisusubizibwa era ne bisasanyizibwa wansi w’okusanyusa nti byasibuka ne ow’oluganda Branham. Okwongerako, omusingi ogwe byawandiikibwa ku kino guliwa?Leka tuyimirire n’enjigirizaeya namadala. Amiina.

Ngezezako nnyo okuleeta okwenkanankana mu birowoozo mu kusimba obubaaka bwo ow’oluganda Branham mu byawandikibwa. Ekijja kijje nsazewo okuyimirira olw’okwolesebwa okw’obuwereeza obw’olunaku lwaffe. Biseera bingi obulamu bwange mbuteese mu katyabaga. Nmwagaala era mpa ekitibwa nabbi wa katonda. Ekisera ky’ekimu, nmatizibwa nga ab’oluganda mu kyaasa kya ba kristayo ekyasokka tebabulira Pawulo, yadde nga yalina okutongozebwa okw’enjawulo. Babulira Kristo ne bateka ensomesa yaabwe mu lunyiriri n’okubikulirwa kwe baafuna okuva eri Katonda. Tebaagenda nga baanyonyola okwolesebwa kwa Pawulo, naye baabuliranga kigambo. Kyokka kyemaanyi nti tulina okubulira Kristo – ekigambo, lwaki tetukoola ky’ekkimu? Siwulirangakko kutongozebwa kubulira nabbi. Kyokka kyemanyi nti tulina okubulira Kristo – ekigambo, era wokka wokka we twogerera ku musajja wa Katonda mu kukwasaganya n’omusomo gwe tulikukwatako. Ekiseera tekituse, we tulina okuteka essira ku muntu otambula ne Katonda? – twetegeeke tutya era n’okuba mu bulamu obutukuvu? Bwetutayiga kati, katonda agya kufuna abantu abalala ab’okutambula nabo. Ebibiina ebirala bikyamukirira kasita bogera ku wo’luganda Branham emirundi mingi, naye tuwulirizeeko katontono kiki ekigambo kye kigamba. Kino kinatukawa paka ffe okutegera nti ekintu kikyamu awantu? Twogera ku kuzukkira, naye twazukira ne kristo mu bulamu obupya? Twogera ku kukyusibwa okw’emibiri gyaffe, naye twalowozako okukyusibwa okwe birowoozo byaafe, emeeme n’omubiri gwona? Abo bokka abakyusibwa mu meeme zabwe be balikyusibwa mu mibiri gyabwe.

Mu mwezi ogw’ekumi nebiri 25th 1977, twategezebwa nti kati ekifananye eky’omukire kyalumbibwa, nga olunaku olw’okulabika ku mwezi gw’okubiri 28th 1963 lulabika nga telukwatagana n’ebyawandiikibwa ku lutambi. Naye okudamu okumatiza tekwawebwa.

Katonda talisobola kumaliriza mulimu mu ffe, okujako nga tugondende omudumizi omukulu era tuleeke ekigambo kye kiragire ffe. Bwetubera nga ffe kkanisa y’omugole, lwaki abakkiriza byegabyemu ebibiina ebikyamukirira, nga ekibiina ekirala kinenya ebibina ebirara obutakkiriza nvunnula yabwe, okujako nga tuyimiridde wamu mu bumu tugenda kugwa olw’okweyawula.

Ab’oluganda abaagalwa, sitegeeza ku basalira musango, mpulira nga nnina omugugu olw’abaana ba Katonda. Sisobola kweyita nti ndi wamwoyo nnyo, nnina ekirabo eky’enjawulo, okubikulirwa oba obuwereeza. Okuyayana kwange kwoka nti mbeere omuwereeza omutuufu owa Katonda.

Mu murembe gw’ekknisa ogusoka, abakkiriza bagezeesa abo abayiita abatume era ne babazula nga si batume. Mu buumu obwa makkanisa gonna mu nsi zonna zonna balikwegatta, nga tebafaayo kunjigiriza, byebakola ne birowoozo byabwe ku bintu eby’omwoyo. Tekiri bwekityo n’omubiri gwa Kristo. Obumu mu bantu buberawo singa tufuka ekitundu ku kigambo (si kitundu ku kuvunula) era tugondere ddala okufugibwa kwa Kristo.

Ensuula eddako